Ennyiriri za Bayibuli ku Amagezi

Ennyiriri za Bayibuli 13 ku Amagezi okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Yakobo 1:5

Naye obanga omuntu yenna ku mmwe aweebuka mu magezi, asabenga Katonda agabira bonna atakayuka, galimuweebwa.

02 Engero 2:6

Kubanga Mukama awa amagezi; era mu kamwa ke muvaamu okumanya n’okutegeera.

03 Engero 9:10

“Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera, era n’okumanya oyo Omutukuvu Katonda, kwe kutegeera.

04 Abakkolosaayi 2:3

Mu Kristo mwe mukwekeddwa eby’obugagga byonna eby’amagezi n’okumanya.

05 1 Abakkolinso 1:30

Kyokka ku bw’oyo muli mu Kristo Yesu, eyafuuka amagezi gye tuli okuva eri Katonda, bwe butuukirivu, n’okutukuzibwa, n’okununulibwa,

06 Engero 4:7

Ddala amagezi kye kintu ekisingira ddala obukulu; noolwekyo fuba ofune amagezi, era fubira ddala nnyo ofune okutegeera.

07 Yakobo 3:17

Naye amagezi agava mu ggulu okusooka byonna malongoofu, era ga mirembe, gafaayo ku bantu abalala, mawulize, gajjudde okusaasira n’ebibala ebirungi, tegasosola mu bantu, era si gannanfuusi.

08 Omubuulizi 7:12

Amagezi kiwummulo, ng’ensimbi bwe ziri ekiwummulo, naye enkizo y’okumanya y’eno: amagezi gakuuma obulamu bw’oyo agalina.

09 Engero 3:13

Aweereddwa omukisa oyo afuna amagezi, omuntu oyo afuna okutegeera,

10 Abaefeso 5:15-16

Mutunule nga mutambula n’obwegendereza, si ng’abatalina magezi wabula ng’abalina amagezi, nga temwonoona biseera kubanga ennaku zino mbi.

11 Engero 16:16

Okufuna amagezi nga kusinga nnyo okufuna zaabu, era n’okufuna okutegeera kikira ffeeza!

12 Danyeri 2:21

Ategeera ebiseera n’ebiro; assaawo bakabaka era aggyawo bakabaka; awa amagezi abagezigezi, era n’okumanyisa abo abategeevu.

13 Zabbuli 111:10

Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera era abo abagondera ebigambo ebyo bajjudde obutegeevu. Mukama atenderezebwenga emirembe gyonna.

Emitwe egikwatagana