Ennyiriri za Bayibuli ku Okusaba n'Ekyawandiikibwa

Ennyiriri za Bayibuli 15 ku Okusaba n'Ekyawandiikibwa okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Yokaana 15:7

Naye bwe munywerera mu Nze ne munyweza ebigambo byange, buli kye munaasabanga kinaabakolerwanga.

02 Zabbuli 119:18

Ozibule amaaso gange, nsobole okulaba eby’ekitalo ebiri mu mateeka go.

03 Isaaya 55:11

bwe kityo ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange bwe kiri; tekiriddayo bwereere, naye kirikola ekyo kye njagala era kirituukiriza ekyo kye nakituma.

04 Abakkolosaayi 3:16

Ekigambo kya Kristo mu bugagga bwakyo kibeerenga mu mmwe, mu magezi gonna nga muyigirizagananga era nga mubuuliragananga mwekka na mwekka mu Zabbuli, ne mu nnyimba, ne mu biyiiye eby’omwoyo nga muyimbira Katonda nga mujjudde ekisa mu mitima gyammwe.

05 Abaebbulaniya 4:12

Ekigambo kya Katonda kiramu era kikola. Kisala okusinga ekitala eky’obwogi obubiri, era kiyitamu ne kituukira ddala ku mmeeme n’omwoyo, n’ennyingo n’obusomyo, era kyawula ebirowoozo n’okufumiitiriza kw’omutima.

06 Zabbuli 119:105

Ekigambo kyo ye ttaala eri ebigere byange, era kye kimulisa ekkubo lyange.

07 Zabbuli 119:11

Ntadde ekigambo kyo mu mutima gwange; ndyoke nneme okwonoona.

08 2 Timoseewo 3:16

Ebyawandiikibwa Ebitukuvu byonna, Katonda ye yabiruŋŋamya nga biwandiikibwa, era bigasa mu kuyigiriza, mu kunenya, mu kuluŋŋamya ne mu kubuuliranga omuntu abe omutuukirivu,

09 Yoswa 1:8

Ekitabo kino eky’amateeka tekikuvanga mu kamwa, okifumiitirizangako emisana n’ekiro olyoke oteekenga mu nkola ebyo bye kikulagira era bw’otyo bw’oneefunira obuwanguzi n’okukulaakulana.

10 Matayo 4:4

Naye Yesu n’amuddamu nti, “Kyawandiikibwa nti: ‘Omuntu tabeera mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.’ ”

11 Yokaana 8:31-32

Awo Yesu n’agamba Abayudaaya abaamukkiriza nti, “Bwe munywerera ku kigambo kyange muba bayigirizwa bange ddala. Era mulitegeera amazima, n’amazima galibafuula ba ddembe.”

12 Zabbuli 1:2

Naye asanyukira okugondera amateeka ga Mukama, era mu mateeka ago mw’alowooleza emisana n’ekiro.

13 Ekyamateeka Olwokubiri 11:18

Kale muterekenga ebigambo byange bino mu mutima gwammwe ne mu mmeeme yammwe; munaabisibanga ku mikono gyammwe ng’akabonero ak’okubibajjukizanga, era mubitekanga ne ku byenyi byammwe.

14 Abaruumi 10:17

Noolwekyo okukkiriza kujja olw’okuwulira ekigambo kya Kristo.

15 Zabbuli 19:14

Nsaba ebigambo by’omu kamwa kange, n’okulowooza okw’omu mutima gwange, bisiimibwe mu maaso go, Ayi Mukama, Olwazi lwange, era Omununuzi wange.

Emitwe egikwatagana