Ennyiriri za Bayibuli ku Musabe Awatali Kukoowa

Ennyiriri za Bayibuli 13 ku Musabe Awatali Kukoowa okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 1 Basessaloniika 5:17

Musabenga obutayosa.

02 Abakkolosaayi 4:2

Munyiikirirenga mu kusaba, nga temuddirira, wabula nga mwebazanga

03 Abaefeso 6:18

nga musabiririranga mu ssaala zonna nga mwegayiririranga mu mwoyo buli kiseera. Mwekuumenga nga mugumiikirizanga, era nga mwegayiririranga abatukuvu, be bantu bonna aba Katonda.

04 Lukka 18:1

Awo Yesu n’agerera abayigirizwa be olugero ng’agamba nga bwe bagwanidde obutakoowanga kusaba n’obutaggwaamu mwoyo, ng’agamba nti,

05 Abaruumi 12:12

nga musanyukira mu kusuubira, nga mugumiikiriza mu kubonaabona era nga munyiikira mu kusaba.

06 Ebikolwa by’Abatume 1:14

Abo bonna ne beeweerayo ddala n’omutima gumu okusaba wamu n’abakazi ne Maliyamu nnyina Yesu ne baganda ba Yesu.

07 Ebikolwa by’Abatume 2:42

Ne banyiikiranga okuyigirizibwa kw’abatume ne mu kussekimu, ne mu kumenya omugaati era ne mu kusaba.

08 Danyeri 6:10

Awo Danyeri bwe yamanya ng’etteeka liwandiikiddwa, n’agenda ewuwe mu nnyumba ye, n’ayambuka mu kisenge kye ekya waggulu ekyalina amadirisa nga goolekedde Yerusaalemi, n’afukamiranga emirundi esatu olunaku, n’asabanga era ne yeebazanga Katonda we nga bwe yakolanga bulijjo.

09 Zabbuli 55:17

Ekiro, ne mu makya ne mu ttuntu, ndaajana nga bwe nsinda; n’awulira eddoboozi lyange.

10 1 Ebyomumirembe 16:11

Mutunuulire Mukama n’amaanyi ge; munoonye amaaso ge ennaku zonna.

11 Abafiripi 4:6

Temweraliikiriranga kintu na kimu, wabula mu buli kintu mu kusabanga ne mu kwegayiriranga awamu n’okwebazanga, mutegeezenga Katonda bye mwetaaga.

12 Ebikolwa by’Abatume 6:4

Ffe tulyoke twemalire ku kusaba, n’okubuulira n’okuyigiriza.”

13 Abaruumi 1:9

Katonda gwe mpeereza n’omutima gwange gwonna nga mbulira Enjiri ey’Omwana we, ye mujulirwa wange, nga bwe mbasabira bulijjo,

Emitwe egikwatagana