Ennyiriri za Bayibuli ku Okukaabira Katonda
Ennyiriri za Bayibuli 8 ku Okukaabira Katonda okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Abatuukirivu bakoowoola Mukama n’abawulira n’abawonya mu byonna ebiba bibateganya.
Mu nnaku yange nakoowoola Mukama; ne nkaabirira Katonda wange annyambe. Yawulira eddoboozi lyange ng’ali mu yeekaalu ye; omulanga gwange ne gutuuka mu matu ge.
Nkoowoola Mukama nga ndi mu nnaku, era n’annyanukula.
nti, “Mu nnaku yange ennyingi nakaabirira Mukama n’anziramu; mu buziba ewala mu magombe nakukoowoola, era n’owulira eddoboozi lyange!
Mukama abeera kumpi n’abo bonna abamukoowoola; abo bonna abamukoowoola mu mazima.
Nalindirira Mukama n’obugumiikiriza, n’antegera okutu, n’awulira okukoowoola kwange,
Bwe nnaabanga mu buzibu nnaakukoowoolanga; kubanga ononnyanukulanga.
Nnaakaabirira Katonda ambeere, ddala nnaakaabirira Katonda nga musaba ampulire.