Ennyiriri za Bayibuli ku Mumutendereze mu Bifo Ebya Waggulu

Ennyiriri za Bayibuli 13 ku Mumutendereze mu Bifo Ebya Waggulu okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Zabbuli 148:1

Mutendereze Mukama! Mumutendereze nga musinziira mu ggulu, mumutenderereze mu bifo ebiri waggulu.

02 Zabbuli 148:2-3

Mumutendereze mmwe mwenna bamalayika be, mumutendereze mmwe mwenna eggye lye ery’omu ggulu. Mmwe enjuba n’omwezi mutendereze Mukama, nammwe mwenna emmunyeenye ezaaka mumutendereze.

03 Zabbuli 148:13

Bitendereze erinnya lya Mukama, kubanga erinnya lye lyokka lye ligulumizibwa; ekitiibwa kye kisinga byonna eby’omu nsi n’eby’omu ggulu.

04 Zabbuli 19:1

Eggulu litegeeza ekitiibwa kya Katonda, ebbanga ne litegeeza emirimu gy’emikono gye.

05 Zabbuli 150:1

Mutendereze Mukama! Mutendereze Katonda mu kifo kye ekitukuvu; mumutenderereze ne mu ggulu lye ery’amaanyi.

06 Zabbuli 150:6

Buli ekissa omukka kitenderezenga Mukama! Mutendereze Mukama.

07 Zabbuli 89:5

Eggulu linaatenderezanga ebyamagero byo n’obwesigwa bwo, Ayi Mukama, mu kibiina ky’abatukuvu bo.

08 Isaaya 6:3

Buli omu yali ng’ayogera ne munne n’eddoboozi ery’omwanguka nti, “Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Mukama Katonda Ayinzabyonna: ensi yonna ejjudde ekitiibwa kye.”

09 Okubikkulirwa 4:8

Buli kimu ku biramu bino ebina kyalina ebiwaawaatiro mukaaga nga bijjudde amaaso enjuuyi zonna ne wansi. Era buli lunaku emisana n’ekiro, awatali kuwummula, nga bigamba nti, “Mutukuvu, Mutukuvu, Mutukuvu, Mukama Katonda Ayinzabyonna, Oyo eyaliwo, aliwo, era ajja okubaawo.”

10 Zabbuli 96:11

Kale eggulu lisanyuke n’ensi ejaguze; ennyanja eyire ne byonna ebigirimu.

11 Zabbuli 148:4

Tendereza Mukama ggwe eggulu eriri waggulu ennyo, naawe amazzi agali waggulu w’eggulu.

12 Nekkemiya 9:6

Ggwe wekka, ggwe Mukama, era ggwe wakola eggulu, n’eggulu erya waggulu, n’eggye lyalyo lyonna, n’ensi n’ebigirimu byonna, n’ennyanja n’ebigirimu byonna. Buli kintu gw’okiwa obulamu, era n’eggye ery’omu ggulu likusinza.

13 Zabbuli 103:20-21

Mwebaze Mukama mmwe bamalayika be, mmwe ab’amaanyi abakola ky’agamba, era abagondera ekigambo kye. Mwebaze Mukama mmwe amaggye ge ag’omu ggulu, mmwe abaweereza be abakola by’ayagala.

Emitwe egikwatagana