Ennyiriri za Bayibuli ku Ssaddaaka ey'Okutendereza

Ennyiriri za Bayibuli 10 ku Ssaddaaka ey'Okutendereza okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Abaebbulaniya 13:15

Kale mu Yesu tuweerayo bulijjo ssaddaaka ey’okutendereza Katonda, kye kirabo eky’emimwa, nga twatula erinnya lye.

02 Zabbuli 50:23

Oyo awaayo ssaddaaka ey’okwebaza angulumiza, era ateekateeka ekkubo ndyoke mulage obulokozi bwa Katonda.”

03 Abaebbulaniya 13:16

Temwerabiranga kukola bulungi n’okugabananga; kubanga ssaddaaka eziri ng’ezo Katonda zimusanyusa.

04 Zabbuli 116:17

Ndiwaayo ekiweebwayo eky’okwebaza, ne nkoowoola erinnya lya Mukama.

05 Yona 2:9

Naye nze, n’oluyimba olw’okukutendereza, ndikuwa ssaddaaka. Ddala ndituukiriza obweyamo bwange kubanga obulokozi buva eri Mukama Katonda.”

06 Zabbuli 27:6

Olwo ononnyimusanga waggulu w’abalabe bange abanneetoolodde. Nnaaweerangayo ssaddaaka mu weema ye nga bwe ntendereza n’eddoboozi ery’omwanguka olw’essanyu; nnaayimbiranga Mukama ennyimba ez’okumutenderezanga.

07 Zabbuli 107:22

Bamuleeterenga ebiweebwayo eby’okwebaza, era batendenga ebikolwa bye n’ennyimba ez’essanyu.

08 Zabbuli 54:6

Nnaakuleeteranga ssaddaaka ey’ekyeyagalire; ne ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama, kubanga ddungi.

09 Koseya 14:2

Mudde eri Mukama nga mwogera ebigambo bino nti, “Tusonyiwe ebibi byaffe byonna, otwanirize n’ekisa, bwe tutyo tunaawaayo ebibala by’akamwa kaffe, ng’ebiweebwayo eby’ente ennume.

10 Zabbuli 141:2

Okusaba kwange kubeere ng’ebyakaloosa mu maaso go, n’okugolola emikono gyange gy’oli kubeere nga ssaddaaka ey’akawungeezi.

Emitwe egikwatagana