Ennyiriri za Bayibuli ku Okusaba okw'Okukkiriza

Ennyiriri za Bayibuli 9 ku Okusaba okw'Okukkiriza okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Yakobo 5:15

Era okusaba kwabwe nga kuweereddwayo n’okukkiriza, kugenda kumuwonya, kubanga Mukama awonya. Singa obulwadde bwe bwava ku kibi kye yakola, Mukama agenda kumusonyiwa.

02 Makko 11:24

Noolwekyo mbagamba nti buli kye munaasabanga, mukkirize nti mukiweereddwa, era kinaabanga bwe kityo gye muli.

03 Yakobo 1:6

Kyokka amusabenga mu kukkiriza, nga tabuusabuusa, kubanga oyo abuusabuusa ali ng’ejjengo ery’oku nnyanja erisundibwa empewo.

04 Matayo 21:22

Buli kye munaasabanga nga mukkiriza, munaakiweebwanga.”

05 Abaebbulaniya 11:6

Naye awatali kukkiriza toyinza kusanyusa Katonda. Buli ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nti Katonda waali era n’abo abamunoonya n’obwesigwa abawa empeera.

06 Matayo 17:20

Yesu n’abaddamu nti, “Olw’okukkiriza kwammwe okutono. Kubanga ddala ddala mbagamba nti, bwe muba n’okukkiriza okufaanana ng’akaweke ka kaladaali, mwandiyinzizza okugamba olusozi luno nti, ‘Vvaawo wano,’ era ne luvaawo era tewandibaddewo kye mulemwa.

07 Makko 9:23

Yesu n’amuddamu nti, “Obanga osobola! Buli kimu kisoboka eri oyo akkiriza.”

08 1 Yokaana 5:14-15

Noolwekyo tulina obuvumu nti bwe tugenda gy’ali ne tumusaba ekintu kyonna, ye nga bw’asiima atuwulira. Era bwe tutegeera nti atuwulira bwe tumusaba, buli kye tumusaba talema kukituwa.

09 Yakobo 1:5

Naye obanga omuntu yenna ku mmwe aweebuka mu magezi, asabenga Katonda agabira bonna atakayuka, galimuweebwa.

Emitwe egikwatagana