Isaaya 1
Luganda Contemporary Bible (Biblica)
1Okwolesebwa kwa Isaaya, mutabani wa Amozi, kwe yafuna okukwata ku Yuda ne Yerusaalemi mu bufuzi bwa Uzziya, ne Yosamu, ne Akazi ne Keezeekiya, bassekabaka ba Yuda.
2Wulira ggwe eggulu, mpuliriza ggwe ensi, kubanga bw’ati Mukama bw’ayogera nti, “Nayonsa ne ndera abaana naye ne banjeemera.
3Ente emanya nannyini yo n’endogoyi emanya ekisibo kya mukama waayo, naye Isirayiri tammanyi, abantu bange tebantegeera.”
4Woowe! Eggwanga erijjudde ebibi, abantu abajjudde obutali butuukirivu, ezzadde eryabakola ebibi, abaana aboonoonyi! Balese Mukama banyoomye Omutukuvu wa Isirayiri, basenguse bamuvuddeko bamukubye amabega.
5Lwaki mweyongera okujeema? Mwagala mwongere okubonerezebwa? Omutwe gwonna mulwadde, n’omutima gwonna gunafuye.
6Okuva mu mala g’ekigere okutuuka ku mutwe temuli bulamu wabula ebiwundu, n’okuzimba, n’amabwa agatiiriika amasira agatanyigibwanga, okusibibwa, wadde okuteekebwako eddagala.
7Ensi yammwe esigadde matongo, ebibuga byammwe byokeddwa omuliro, nga nammwe bennyini mulaba. Bannamawanga balidde ensi yammwe, era ezise kubanga bannaggwanga bagisudde.
8Omuwala wa Sayuuni alekeddwa ng’ensiisira esigadde mu nnimiro y’emizabbibu, ng’ekiwummulirwamu mu nnimiro y’emyungu, ng’ekibuga ekizingiziddwa.
9Singa Mukama ow’Eggye teyatulekerawo bantu abatonotono abaasigalawo twandibadde nga Sodomu, twandifuuse nga Ggomola.
10Muwulirize ekigambo kya Katonda mmwe abafuzi ba Sodomu! Musseeyo omwoyo eri okuyigiriza kwa Katonda waffe mmwe abantu b’e Ggomola!
11“Ssaddaaka enkumu ze munsalira zingasa ki? Nkooye endiga ennume enjokye eziweebwayo, so sisanyukira musaayi gwa nte, newaakubadde ogw’abaana b’endiga, newaakubadde ogw’embuzi ennume,” bw’ayogera Mukama.
12Bwe mujja mu maaso gange, ani aba abayise ne mujja okulinnyirira empya zange?
13Mulekeraawo okuleeta ssaddaaka zammwe ezitaliimu; obubaane bwammwe bwa muzizo gye ndi. Omwezi Ogubonese ne Ssabbiiti n’enkuŋŋaana zammwe zijjudde obutali butuukirivu.
14Emyezi gyammwe Egibonese n’embaga zammwe ez’ennaku entukuvu, emmeeme yange ebikyaye, binfuukidde omugugu, nkooye okubigumiikiriza.
15Bwe munaayimusanga emikono gyammwe musabe nnaabakwekanga amaaso gange, era ne bwe munaasabanga ennyo siiwulirenga kubanga emikono gyammwe gisaabaanye omusaayi.
16Munaabe, mwetukuze muggirewo ddala ebikolwa byammwe ebibi gye ndi, mulekeraawo okukola ebibi.
17Muyige okukola obulungi, musalenga emisango n’amazima, mudduukirirenga abajoogebwa, musalenga omusango gw’atalina kitaawe, muwolerezenga bannamwandu.
18“Mujje nno tukubaganye ebirowoozo,” bw’ayogera Mukama; “ebibi byammwe ne bwe biba ng’olugoye olumyufu binaafuuka byeru ng’omuzira, ne bwe binaaba bitwakaavu nga langi emyufu enkwafu, binaatukula ng’ebyoya by’endiga.
19Bwe munaagondanga ne muwulira, munaalyanga ebirungi eby’ensi;
20naye bwe munaagaananga ne mujeemanga ekitala kinaabalyanga,” kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.
21Laba ekibuga ekyesigwa bwe kifuuse ng’omwenzi! Oyo eyasalanga emisango mu bwenkanya! Obutuukirivu bwatuulanga mu ye, naye kaakano batemu bennyini nnyini!
22Effeeza yo efuuse masengere, wayini wo afuuse wa lujjulungu.
23Abafuzi bo bajeemu, mikwano gya babbi, bonna bawoomerwa enguzi, era banoonya kuweebwa birabo; tebayamba batalina ba kitaabwe, so n’ensonga za bannamwandu tebazifaako.
24Noolwekyo kyava ayogera Mukama, Mukama ow’Eggye, ow’amaanyi owa Isirayiri nti, “Ndifuka obusungu ku balabe bange, era ne nesasuza abo abankyawa.
25Era ndikukwatamu n’omukono gwange, ne nnoongoosereza ddala amasengere go gonna ne nkuggyamu ebitali birungi byonna.
26Era ndikomyawo abalamuzi bo ng’olubereberye n’abo abakuwa amagezi, nga bwe kyali okusooka. Olwo olyoke oyitibwe ekibuga eky’obutuukirivu, ekibuga ekyesigwa.”
27Sayuuni alinunulibwa lwa bwenkanya, n’abantu baamu abalyenenya mu butuukirivu.
28Naye abeewaggula n’abakozi b’ebibi balizikirizibwa wamu, n’abo abava ku Mukama Katonda, balimalibwawo.
29“Kubanga mulikwatibwa ensonyi olw’emiti mwe mwenyumiririzanga, n’olw’ennimiro ze mweroboza.
30Kubanga mulibeera ng’omuvule oguwotoka era ng’ennimiro etaliimu mazzi.
31N’omusajja ow’amaanyi alifuuka ng’enfuuzi, n’omulimu gwe ng’akasasi akavudde ku lyanda, era byombi biriggiira wamu so tewaliba azikiza omuliro ogwo.”
Isaaya
Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.
© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0