Isaaya 43
Luganda Contemporary Bible (Biblica)
1Naye kaakano bw’atyo bw’ayogera Mukama oyo eyakutonda, ggwe Yakobo, eyakukola ggwe Isirayiri: “Totya kubanga nkununudde, nakuyita nga mpitira ddala erinnya lyo, oli wange.
2Bw’onooyitanga mu mazzi amawanvu nnaabeeranga naawe, ne bw’onooyitanga mu migga tegirikusaanyaawo; bw’onooyitanga mu muliro tegukwokyenga, ennimi z’omuliro tezirikwokya.
3Kubanga nze Mukama Katonda wo, Katonda Omutukuvu owa Isirayiri; Omulokozi wo. Mpayo Misiri ggwe osobole okuteebwa, era Kuusi ne Seba mbiwaayo gwe ofune emirembe gyo.
4Kubanga oli wa muwendo gye ndi, ow’ekitiibwa, era kubanga nkwagala, ndiwaayo abasajja ku lulwo mpeeyo n’abantu ku lw’obulamu bwo.
5Totya, kubanga nze ndi nawe, ndireeta ezzadde lyo okuva ebuvanjuba era nkukuŋŋaanye okuva ebugwanjuba.
6Ndigamba obukiikakkono nti, ‘Waayo b’olina,’ n’obukiikaddyo nti, ‘Tobagaanira.’ Leeta batabani bange okuva ewala ne bawala bange okuva ku nkomerero y’ensi.
7Buli muntu yenna ayitibwa erinnya lyange, gwe natonda olw’ekitiibwa kyange, gwe nakola gwe natonda.”
8Fulumya abo abalina amaaso naye nga tebalaba, abalina amatu naye nga tebawulira.
9Amawanga gonna ka gakuŋŋaane n’abantu bajje. Ani ku bo eyali ayogedde ku bintu bino? Ani ku bo eyali alangiridde ebyaliwo? Leka baleete abajulizi okukakasa nti baali batuufu abawulira bagambe nti, “Ddala bwe kiri.”
10“Muli bajulirwa bange,” bw’ayogera Mukama, “omuweereza wange gwe nalonda: mulyoke mummanye, munzikirize, mutegeere nga Nze wuuyo: Tewali Katonda eyansooka era teriba mulala alinzirira.
11Nze, Nze mwene, nze Mukama; okuggyako nze tewali Mulokozi.
12Nze naleeta okwolesebwa ne nangirira ne ndokola; nze so si katonda mulala mugwira mu mmwe. Muli bajulirwa bange,” bw’ayogera Mukama.
13“Weewaawo, okuva mu nnaku ez’edda Nze Nzuuyo; tewali n’omu ayinza okuwonya omuntu mu mukono gwange. Kye nkola ani ayinza okukikyusa?”
14Bw’ati bw’ayogera Mukama, Omununuzi wammwe, Omutukuvu wa Isirayiri nti, “Ku lwammwe nditumya e Babulooni, ndeetere ab’e Babulooni bonna nga bawambe mu byombo ebyabeewanya.
15Nze Mukama, Omutukuvu wammwe, Omutonzi wa Isirayiri, Kabaka wammwe.”
16Bw’ati bw’ayogera Mukama, oyo eyakola ekkubo mu nnyanja, n’oluguudo mu mazzi amangi ennyo,
17eyaleetera amagaali, n’embalaasi n’eggye, n’abaali bazze okubayamba, byonna awamu okugwa omwo, ne bitaddamu kusituka, nga bizikiridde, nga bikomye ng’akatambi akabadde kaaka:
18“Mwerabire eby’emabega, so temulowooza ku by’ayita.
19Laba, nkola ekintu ekiggya! Kaakano kitandise okulabika, temukiraba? Nkola oluguudo mu ddungu ne ndeeta emigga mu lukoola.
20Ensolo ez’omu nsiko zinzisaamu ekitiibwa, ebibe n’ebiwuugulu; kubanga nze ngaba amazzi mu ddungu, n’emigga mu lukoola, okunywesa abantu bange, abalonde bange,
21abantu be nnekolera balangirire ettendo lyange.
22“So tonkowodde ggwe, Yakobo, era teweekooyeza ggwe Isirayiri.
23Tondeetedde ndiga ey’ebiweebwayo ebyokebwa, wadde okunzisaamu ekitiibwa ne ssaddaaka zo. Sikukaluubirizanga nga nkusaba ebiweebwayo ebyempeke wadde okukukooya n’obubaane.
24Tondeeteddeeyo bubaane buwunya kawoowo wadde okunzikusa n’amasavu ga ssaddaaka zo, naye onkoyesezza n’ebibi byo, era n’onteganya n’obutali butuukirivu bwo.
25“Nze, Nze mwene, nze wuuyo asangula ebyonoono byo ku lwange nze, so sirijjukira bibi byo.
26Nzijukiza eby’edda, tuwoze ffembi, jjangu ensonga tuzoogereko fembi, yogera ebiraga nga toliiko musango.
27Kitaawo eyasooka yasobya, abakulembeze bo baanjemera.
28Kyendiva ndiswaza abakungu ba yeekaalu yo, era ndiwaayo Yakobo azikirizibwe ne Isirayiri aswazibwe.”
Isaaya
Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.
© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0