Isaaya 62

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

1Ku lwa Sayuuni ssiisirike, era ku lwa Yerusaalemi ssiiwummule, okutuusa nga obutuukirivu bwe butemagana ng’emmambya esala, obulokozi bwe ng’ettaala eyaka.

2Amawanga galiraba obutuukirivu bwo, era ne bakabaka bonna baliraba ekitiibwa kyo. Oliyitibwa erinnya epya akamwa ka Mukama lye kalikuwa.

3Olibeera ngule etemagana mu mikono gya Mukama, enkuufiira y’obwakabaka mu mukono gwa Katonda wo.

4Ataliddayo kuyitibwa nti, Eyalekebwa, ensi yo teriddamu kuyitibwa nti, Yazika. Naye oliyitibwa nti, Gwe nsanyukira, n’ensi yo eyitibwe nti, Eyafumbirwa. Kubanga Mukama akusanyukira era ensi yo eribeera ng’omukazi afumbiddwa.

5Kubanga ng’omuvubuka bwawasa omuwala omuto bw’atyo eyakutonda bwalikulabirira. Nga omugole omusajja bwasanyukira oyo gw’awasizza, bw’atyo Katonda bwalikusanyukira.

6Ntadde abakuumi ku bbugwe wo, ggwe Yerusaalemi abataasirike emisana n’ekiro. Mmwe abakoowoola Mukama temuwummula.

7Era temumuganya kuwummula okutuusa nga azimbye Yerusaalemi era ng’agifudde ettendo mu nsi.

8Mukama yalayira n’omukono gwe ogwa ddyo era n’omukono gwe ogw’amaanyi: “Siriddayo nate kuwaayo ŋŋaano yo kubeera mmere y’abalabe bo, era bannaggwanga tebaddeyo kunywa nvinnyo yo gy’otawaanidde.

9Naye abo abagikungula be baligirya ne batendereza Mukama, n’abo abanoga emizabbibu be baliginywera mu mpya z’omu watukuvu wange.”

10Muyiteemu, muyite mu miryango mugende! Muzimbe oluguudo, mulugyemu amayinja. Muyimusize amawanga ebbendera.

11Laba Mukama alangiridde eyo yonna ensi gy’ekoma, nti, “Gamba omuwala wa Sayuuni nti, ‘Laba omulokozi wo ajja, Laba aleeta n’ebirabo bingi, n’abantu b’anunudde bamukulembedde.’ ”

12Era baliyitibwa Abantu Abatukuvu, Abanunule ba Mukama, ne Yerusaalemi kiyitibwe, Ekibuga Mukama ky’ayagala, Ekibuga Ekitakyali ttayo.

Isaaya

Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0