Isaaya 24

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

1Laba Mukama alifuula ensi amatongo, agimalirewo ddala, era azikirize n’obwenyi bwayo era asaasaanye n’abagibeeramu.

2Bwe kityo bwe kiriba, ekiriba ku kabona kye kiriba ne ku bantu, ekiriba ku mwami kye kiriba ne ku muweereza omusajja, ekiriba ku mugole we kye kiriba ne ku muweereza we omukazi, ekiriba ku atunda kye kiriba ne ku muguzi, ekiriba ku awola kye kiriba ne ku yeewola, ekiriba ku abanja kye kiriba ne ku abanjibwa.

3Okumalibwamu ensa, ensi erimalibwamu ddala ensa, n’okunyagibwa, erinyagibwa. Mukama Katonda y’akyogedde.

4Ensi ekala n’eggwaamu obulamu, ensi ekala n’ewuubaala, abantu ab’ekitiibwa baggwaamu amaanyi.

5Ensi eyonooneddwa abantu baayo, bajeemedde amateeka, bamenye ebiragiro, ne bamenyawo n’endagaano ey’emirembe n’emirembe.

6Noolwekyo ekikolimo kimalawo ensi; n’abantu baayo bateekwa okusasula olw’omusango ogwabasinga. Abatuuze b’ensi bayidde, Era abatono be basigaddewo.

7Wayini omusu aggwaamu, n’omuzabbibu gukala, ab’amasanyu bonna bakaaba olw’obulumi.

8Okujaguza kw’ebitaasa kusirise, n’oluyoogaano lw’abo ababeera mu masanyu lusirise, entongooli esanyusa esirise.

9Tebakyanywa nvinnyo nga bwe bayimba, n’omwenge gukaayira abagunywa.

10Ekibuga ekyazikirizibwa kisigadde nga matongo, na buli mulyango oguyingira mu nnyumba guzibiddwa.

11Bakaabira envinnyo mu nguudo, n’essanyu lyonna liweddewo, n’okujaguza kwonna tekukyaliwo mu nsi.

12Ekibuga kizikiridde wankaaki waakyo amenyeddwamenyeddwa.

13Bwe kityo bwe kiriba ku nsi ne mu mawanga ng’omuzeyituuni bwe gunyeenyezebwa oba ng’ebinywa ebisigaddewo bwe bibeera oluvannyuma lw’okukungula kw’ezabbibu.

14Bayimusa amaloboozi gaabwe, baleekaana olw’essanyu, batendereza ekitiibwa kya Mukama Katonda okuva mu bugwanjuba.

15Noolwekyo abo abali mu buvanjuba mugulumize Mukama, mutendereze erinnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri, mu bizinga eby’ennyanja.

16Tuwulira okuyimba okuva ku nkomerero y’ensi, “Ekitiibwa kibeere eri Omutuukirivu.” Naye ne njogera nti, “Nsanawo, nsanawo. Zinsaze. Ab’olukwe balya mu bannaabwe olukwe, Ab’enkwe bakozesa enkwe okulya mu bannaabwe olukwe.”

17Entiisa n’obunnya n’omutego bibalindiridde, mmwe abantu b’ensi.

18Buli alidduka eddoboozi ery’entiisa, aligwa mu kinnya, na buli alirinnya n’ava mu kinnya alikwatibwa mu mutego. Enzigi z’eggulu ziguddwawo, N’emisingi gy’ensi gikankana.

19Ensi emenyeddwamenyeddwa, ensi eyawuliddwamu, ensi ekankanira ddala.

20Ensi etagala ng’omutamiivu, eyuugayuuga ng’akasiisira bwe kayuugayuuga mu kibuyaga, omusango gwe gumulumiriza nnyo olw’obujeemu bwe, era ensi egwa n’etaddamu kuyimuka.

21Ku lunaku olwo Mukama Katonda alibonereza ab’amaanyi abali waggulu mu bwengula, ne bakabaka abali wansi ku nsi.

22Balikuŋŋaanyirizibwa wamu ng’abasibe bwe bakuŋŋanyirizibwa mu kkomera, era baliweebwa ekibonerezo eky’okuggalirwa mu kkomera ennaku ennyingi.

23Omwezi gulitabulwatabulwa, n’enjuba eriswazibwa; Mukama Katonda ow’Eggye alifugira mu kitiibwa ku Lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi, ne mu maaso g’abakadde.

Isaaya

Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0