Isaaya 41
Luganda Contemporary Bible (Biblica)
1“Musirike mumpulirize mmwe ebizinga, amawanga gaddemu amaanyi. Mwetegeke okuleeta emisango gyammwe mu mbuga mujja kufuna obwogerero. Tukuŋŋaane tulabeko omutuufu.
2“Ani eyayita omuweereza we okuva mu buvanjuba, eyamuyita akole emirimu gye amuweereze mu butuukirivu? Ani eyamuwa obuwanguzi ku bakabaka ne ku mawanga, n’abafuula ng’enfuufu n’ekitala kye, obusaale bwe ne bubafuula ebisasiro ebitwalibwa empewo?
3N’agenda ng’abagoba embiro n’ayita bulungi mu makubo ebigere bye gye by’ali bitayitanga.
4Ani eyakola kino ng’ayita emirembe gy’abantu okuva ku lubereberye? Nze Mukama ow’olubereberye era ow’enkomerero, nze wuuyo.”
5Ebizinga by’alaba ne bitya; n’ensi yonna n’ekankana: baasembera kumpi ne batuuka.
6Buli muntu yayamba muliraanwa we ng’agamba nti; “Guma omwoyo!”
7Awo omubazzi n’agumya omuweesi wa zaabu omwoyo, n’oyo ayooyoota n’akayondo n’agumya oyo akuba ku luyijja ng’ayogera ku kyuma ekigatta nti, “Nga kirungi,” era ne bakikomerera n’emisumaali kireme okusagaasagana.
8“Naye ggwe Isirayiri omuweereza wange, Yakobo gwe nalonda, ezzadde lya Ibulayimu mukwano gwange,
9ggwe, gwe naggya ku nkomerero y’ensi ne nkuyita okuva mu bitundu by’ensi ebikomererayo ddala, ne nkugamba nti, ‘Oli muddu wange,’ nze nakulonda so sikusuulanga:
10Totya kubanga nze ndi wamu naawe; tokeŋŋentererwa, kubanga nze Katonda wo. Nnaakuwanga amaanyi. Wewaawo nnaakuyambanga n’omukono ogwa ddyo ogw’obutuukirivu bwange.”
11“Laba, abo bonna abakukambuwalidde balikwatibwa ensonyi ne balaba ennaku. Abo abakuwakanya balifuuka ekitagasa ne baggwaawo.
12Olibanoonya abo abaakukijjanyanga naye n’otobalaba. Abo abaakulwanyisanga baliggwaamu ensa.
13Kubanga nze Mukama Katonda wo akukwata ku mukono ogwa ddyo, nze nkugamba nti, Totya nze nzija kukuyamba.
14Wadde ng’oli lusiriŋŋanyi totya, ggwe Isirayiri, kubanga nnaakuyamba,” bw’ayogera Mukama Omununuzi wo, Omutukuvu wa Isirayiri.
15“Laba ndikufuula ng’ekyuma ekiggya ekisala ennyo, ekyogi eky’amannyo amangi. Muliwuula ensozi ne muzimementulira ddala, obusozi ne mubufuula ebisusunku.
16Oliziwewa empewo n’ezifuumula, embuyaga ezifuumuka zizisaasaanye. Era naawe olisanyukira mu Mukama, era mu Mutukuvu wa Isirayiri mw’olyenyumiririza.”
17“Abaavu n’abali mu bwetaavu bwe baneetaganga amazzi ne baganoonya naye ne gababula, ate nga ennimi zaabwe zikaze, nze Mukama ndibawulira, nze Katonda wa Isirayiri siribaleka.
18Ndikola emigga ku busozi obutaliiko kantu, era n’ensulo wakati mu biwonvu. Olukoola ndirufuula ennyanja, n’eddungu lirivaamu enzizi z’amazzi.
19Ndisimba mu lukoola omuvule ne akasiya, omumwanyi n’omuzeyituuni, ate nsimbe mu ddungu enfugo n’omuyovu awamu ne namukago.
20Abantu balyoke balabe bamanye, balowooze era batuuke bonna okutegeera nti omukono gwa Mukama gwe gukoze kino, nti Omutukuvu wa Isirayiri yakikoze.”
21Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda gye muli mmwe nti, “Mmwe bakatonda baamawanga, mujje nammwe mwogere. Muleete ensonga zammwe tuziwulire,” bw’ayogera Kabaka wa Yakobo.
22“Baleete bakatonda bwabwe batubuulire ebigenda okubaawo. Batubuulire n’ebyaliwo emabega, tusobole okubimanya, n’okubirowoozaako n’okumanya ebinaavaamu oba okutubuulira ebigenda okujja.
23Mutubuulire ebigenda okubaawo tulyoke tumanye nga muli bakatonda. Mubeeko kye mukola ekirungi oba ekibi tulyoke tutye era tukeŋŋentererwe mu mutima.
24Laba, temuliiko bwe muli ne bye mukola tebigasa. Abo ababasinza bennyamiza.
25Nonze omuntu alifuluma mu bukiikakkono akoowoola erinnya lyange, abeera mu buvanjuba. Alirinnyirira abafuzi ng’asamba ettaka, abe ng’omubumbi asamba ebbumba.
26Ani eyakyogera nti kiribeerawo tulyoke tumanye, eyakyogera edda tulyoke tugambe nti, ‘Wali mutuufu?’ Tewali n’omu yakyogerako, tewali n’omu yakimanya era tewali n’omu yawulira kigambo na kimu okuva gye muli.
27Nasooka okubuulira Sayuuni era ne mpeereza omubaka e Yerusaalemi ababuulire amawulire amalungi.
28Naye tewali n’omu mu bakatonda bammwe eyabategeeza kino. Tewali n’omu awa bigambo biruŋŋamya, tewali n’omu addamu bwe mbuuza.
29Laba, bonna temuli nsa! Bye bakola byonna tebigasa. Ebifaananyi byabwe byonna ebibajje, mpewo na butaliimu.”
Isaaya
Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.
© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0