Isaaya 12
Luganda Contemporary Bible (Biblica)
1Ku lunaku olwo oligamba nti, “Nnaakwebazanga ayi Mukama Katonda; newaakubadde nga wansunguwalira, obusungu bwo bwaggwaawo era onzizizzaamu amaanyi.
2Laba Katonda bwe bulokozi bwange; nzija kumwesiga era siritya; kubanga Mukama Katonda ge maanyi gange era lwe luyimba lwange, era afuuse obulokozi bwange.”
3Munaasenanga n’essanyu amazzi okuva mu nzizi ez’obulokozi.
4Era ku lunaku olwo mulyogera nti, “Mwebaze Mukama Katonda, mukoowoole erinnya lye, mubuulire ebikolwa bye mu mawanga, mwogere nti erinnya lye ligulumizibwe.
5Mumuyimbire Mukama Katonda ettendo kubanga akoze eby’ettendo; muleke kino kimanyibwe mu mawanga gonna.
6Leekaana n’eddoboozi ery’omwanguka oyimbe n’essanyu ggwe omuntu w’omu Sayuuni, kubanga Omutukuvu wa Isirayiri ali wakati mu ggwe mukulu.”
Isaaya
Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.
© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0