Isaaya 18
Luganda Contemporary Bible (Biblica)
1Zikusanze, ggwe ensi ey’ebiwaawaatiro ebikwakwaya, eri emitala w’emigga gya Kuusi,
2etuma ababaka ne bagendera mu maato ag’ebitoogo ku nnyanja. Mugende mmwe ababaka abangu, eri abantu abawanvu ab’emibiri emiweweevu, eri abantu abatiibwa abeewala n’ab’okumpi, eggwanga ery’amaanyi eryogera olulimi olutamanyiddwa, ensi eyawulwamu emigga.
3Mmwe mwenna abantu abali mu nsi, mmwe ababeera ku nsi, bendera lweriwanikibwa ku nsozi, muligiraba, era ekkondeere bwe lirifuuyibwa, muliriwulira.
4Kubanga bw’atyo Mukama bw’aŋŋambye nti, “Ndyesirikira ntunule nga nsinziira ewange, ng’olubugumu olutemagana mu musana, ng’ekire ky’omusulo mu lubugumu olw’omu biro eby’amakungula.”
5Kubanga okukungula kuliba tekunatuuka, okumulisa nga kuwedde, n’ekimuli nga kifuuka zabbibu eyengedde, aliwawaagula obutabi n’ebiwabyo, n’amatabi agalanda aligasalira.
6Gonna galirekerwa ennyonyi ez’oku nsozi ezirya ebiramu n’ensolo ez’ensi. Era ennyonyi ezirya ebiramu zirye okwo mu biseera by’ekyeya, n’ensolo zonna ez’omu nsiko zirye okwo mu biseera by’obunnyogovu.
7Mu kiseera ekyo Mukama Katonda ow’Eggye balimuleetera ebirabo, ensi ey’abantu abawanvu ab’emibiri emiweweevu, abantu abatiibwa abeewala n’abookumpi, ensi ey’eryanyi, eyawulwamu emigga, ku lusozi Sayuuni ekifo ky’erinnya lya Mukama Ayinzabyonna.
Isaaya
Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.
© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0