Isaaya 3
Luganda Contemporary Bible (Biblica)
1Laba kaakano, Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye, aggya ku Yerusaalemi ne ku Yuda ekibeesiguza ne kwe banyweredde, ekibeesiguza kyonna k’ebeere mmere, ka gabe mazzi.
2Omusajja ow’amaanyi, n’omusajja omulwanyi omuzira, omulamuzi, ne nnabbi, n’omulaguzi, n’omukadde.
3Omuduumizi akulira ekibinja ky’amakumi ataano, n’omuwi w’amagezi, omulogo, omufuusa omugezigezi.
4“Era ndifuula abalenzi obulenzi okuba abafuzi baabwe, n’abaana obwana balibafuga.”
5Era abantu balijooga bannaabwe, buli muntu anyigirize munne, ne muliraanwa anyigirize muliraanwa we. Abato baliyisa mu bakulu amaaso n’oyo omuntu ataliiko bw’ali ajooge omuntu ow’ekitiibwa.
6Ekiseera kirituuka omusajja agambe muganda we nti, “Ggwe alina ku ngoye ba omukulembeze waffe, n’ebizibu bino ggwe oba obyetikka!”
7Naye ku olwo lwennyini aliddamu nti, “Si nze n’aba ow’okubawonya, mu nnyumba yange temuli mmere, wadde ebyambalo. Temumpa kukulembera bantu!”
8Kubanga Yerusaalemi kizikiridde ne Yuda agudde! Kubanga ebigambo byabwe byonna n’ebikolwa biwakanya Mukama Katonda, bityoboola ekitiibwa kye.
9Engeri gye batunulamu eragira ddala nga bwe balina omusango, era boolesa ekibi kyabwe nga Sodomu awatali kukweka n’akatono. Zibasanze! Kubanga bo bennyini be beereeteedde okuzikirira.
10Gamba abatuukirivu nti bo tebaabeeko mutawaana, kubanga baakuwoomerwa ebibala by’ebikolwa byabwe.
11Zisanze abakozi b’ebivve! Banaatuuka mu kuzikirira! Balisasulibwa emikono gyabwe kye gikoze.
12Abantu bange banyigirizibwa abaana abato, abakazi kaakano be babafuga. Woowe! Abantu bange bakyamizibwa abakulembeze baabwe era babatabulatabula okubaggya mu kkubo ettuufu.
13Mukama Katonda ali mu kifo kye mu mbuga, ayimiridde okusalira abantu be omusango.
14Mukama Katonda asala omusango gw’abakadde n’abakulembeze b’abantu be. “Mmwe mwayonoona ennimiro yange ey’emizabbibu. Ebyanyagibwa ku baavu biri mu nnyumba zammwe.
15Lwaki mulinnyirira abantu bange, lwaki mutulugunya abaavu?” bw’ayogera Mukama Katonda Ayinzabyonna.
16Mukama Katonda agamba nti, “Abakazi b’omu Sayuuni beemanyi, era batambula balalambazza ensingo nga batunuza bukaba. Batambula basiira nga bavuza obukomo bw’oku magulu gaabwe.
17Mukama kyaliva aleeta amabwa ku mitwe gy’abakazi ba Sayuuni, ne gifuuka gya biwalaata.”
18Olunaku lujja Mukama lwaliggya ku bakazi b’omu Yerusaalemi ebintu byonna ebibaleetera amalala, ebikomo by’oku magulu, ebitambaala ebibikka ku mitwe, n’obukuufiira,
19ebyokumatu, ebyambalwa mu bulago, n’obutimba bw’omu maaso,
20ebyokumitwe, ebyokumikono, ebyomukiwato,
21empeta ez’oku ngalo n’ez’omu nnyindo,
22engoye ennungi, n’eminagiro, n’amaganduula, n’obusawo,
23n’endabirwamu, n’engoye ez’obutimba, n’eza linena, n’ebitambaala eby’oku mitwe ebinaanikiddwa n’amayinja ag’omuwendo, n’engoye ezibabikka.
24Mu kifo ky’akaloosa walibaawo kuwunya kivundu, awandibadde enkoba ennungi wabeewo biguwa, n’awaali enviiri ennongoose obulungi wabeewo kiwalaata, mu kifo ky’engoye babeere mu nziina, n’awaali obulungi waddewo obulambe.
25Abasajja bo balittibwa kitala, abalwanyi bo abazira bagwire mu lutalo.
26N’enzigi za Sayuuni zirikaaba ne zikungubaga era ekibuga kyennyini kiriba ng’omukazi alekeddwa obwereere ng’atudde mu ttaka.
Isaaya
Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.
© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0