Isaaya 15

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

1Mu kiro kimu kyokka Ali ekya Mowaabu kirizikirizibwa ne kimalibwawo. Kiiri ekya Mowaabu nakyo ne kizikirizibwa mu kiro!

2Abantu b’e Diboni bambuse ku lusozi okukaabira mu ssabo lyabwe. Abantu ba Mowaabu bakaaba bakungubagira ebibuga byabwe ebya Nebo ne Medeba. Buli mutwe gwonna gumwereddwako enviiri na buli kirevu kyonna kimwereddwa.

3Beesibye ebibukutu mu nguudo; ku nnyumba waggulu era ne mu bibangirize ebinene eby’omu bibuga bakaaba. Buli muntu atema emiranga n’abikaabira amaziga amayitirivu.

4Kesuboni ne Ereyale bakaaba mu ddoboozi ery’omwanguka, n’amaloboozi gaabwe gawulikika e Yakazi. Abasajja ba Mowaabu abalina ebyokulwanyisa kyebava bakaaba mu ddoboozi ery’omwanguka, emmeeme ekankanira munda mu Mowaabu.

5Omutima gwange gukaabira Mowaabu; abantu be babundabunda, baddukira e Zowaali ne Yegulasuserisiya. Bambuka e Lakisi nga bwe bakaaba; bakaabira mu kkubo ery’e Kolonayimu nga boogera ku kuzikirizibwa kwabwe.

6Amazzi g’e Nimulimu gakalidde, omuddo guwotose, omuddo omugonvu, guggwaawo, tewali kintu kimera.

7Abantu basomoka akagga ak’enzingu nga badduka n’ebintu byabwe bye baafuna ne babitereka.

8Okukaaba kwetooloodde ensalo za Mowaabu; amaloboozi gatuuse e Yegalayimu, n’ebiwoobe ne bituuka e Beererimu.

9Amazzi g’e Diboni gajjudde omusaayi, naye ndyongera okuleeta ebirala ku Diboni; empologoma egwe ku abo abalisigalawo mu Mowaabu, ne ku abo abalisigalawo ku nsi.

Isaaya

Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0