Isaaya 48
Luganda Contemporary Bible (Biblica)
1“Muwulire kino, mmwe ennyumba ya Yakobo, abayitibwa erinnya lya Isirayiri, era abaava mu nda ya Yuda. Mmwe abalayirira mu linnya lya Mukama, era abaatula Katonda wa Isirayiri, naye si mu mazima wadde mu butuukirivu.
2Kubanga beeyita ab’ekibuga ekitukuvu, abeesiga Katonda wa Isirayiri, Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
3Okuva ku ntandikwa, nayasanguza ebyali bigenda okubaawo; byava mu kamwa kange ne mbyogera. Amangwago ne tubikola ne bituukirira.”
4Kubanga namanya obukakanyavu bwammwe; ebinywa by’ensingo nga bikakanyavu ng’ekyuma; ekyenyi ng’ekikomo.
5Nabamanyisizaawo edda ebyali bigenda okujja nga tebinnabaawo, muleme kugamba nti, “Bakatonda bange be baabikola: Ekifaananyi kyange ekyole n’ekifaananyi ekisaanuuse bye byakikola.”
6Mulabe ebintu bino nabibagamba dda, era temubikkirize? “Okuva leero nzija kubabuulira ku bintu ebiggya ebigenda okujja, eby’ekyama bye mutawulirangako.
7Mbikola kaakano, so si ekiseera ekyayita: mwali temubiwulirangako mu biseera eby’emabega si kulwa nga mugamba nti, ‘Laba nnali mbimanyi.’
8Towulirangako wadde okutegeera. Okuva edda n’edda okutu kwo tekuggukanga. Kubanga namanya nti wali kyewaggula, okuva ku kuzaalibwa kwo wayitibwa mujeemu.
9Olw’erinnya lyange ndwawo okusunguwala. Olw’ettendo lyange ndwawo okukusunguwalira nneme okukuzikiriza.
10Laba nkugezesezza naye si nga ffeeza. Nkugezesezza mu kirombe ky’okubonaabona.
11Ku lwange nze, ku lwange nze ndikikola. Erinnya lyange nga livumiddwa. Ekitiibwa kyange sirikiwa mulala.
12“Mpuliriza ggwe Yakobo. Isirayiri gwe nalonda. Nze Nzuuyo. Nze ow’olubereberye era nze ow’enkomerero.
13Omukono gwange gwe gwateekawo omusingi gw’ensi, era omukono gwange ogwa ddyo ne gwanjuluza eggulu. Bwe mbiyita byombi bijja.
14“Mwekuŋŋaanye mwenna mujje muwulire! Ani ku bo eyali alangiridde ebintu bino? Mukama amwagala; ajja kutuukiriza ekigendererwa kye e Babulooni, era omukono gwe gwolekere Abakaludaaya.
15Nze; Nze nzennyini nze njogedde. Nze namuyita. Ndimuleeta era alituukiriza omulimu gwe.
16“Munsemberere muwulirize bino. “Okuva ku lubereberye saayogera mu kyama. Nze mbaddewo okuviira ddala ku ntandikwa.” Era kaakano Mukama Ayinzabyonna n’Omwoyo we antumye.
17Bw’atyo bw’ayogera Mukama, Omununuzi wammwe, Omutukuvu wa Isirayiri nti, “Nze Mukama Katonda wo akuyigiriza okukulaakulana, akukulembera mu kkubo ly’oteekwa okutambuliramu.
18Singa kale wali owulirizza ebiragiro byange! Wandibadde n’emirembe egikulukuta ng’omugga! Era n’obutuukirivu bwo ng’amayengo g’ennyanja,
19ezzadde lyo lyandibadde ng’omusenyu abaana bo ng’obuweke bwagwo. Erinnya lyabwe teryandivuddewo wadde okuzikirira nga wendi.”
20Muve mu Babulooni, mudduke Abakaludaaya. Mugende nga mutegeeza amawulire gano n’essanyu. Mugalangirire wonna wonna n’okutuusa ku nkomerero y’ensi. Mugambe nti, “ Mukama anunudde omuddu we Yakobo!”
21So tebaalumwa nnyonta bwe yabayisa mu malungu. Yabakulukusiza amazzi mu lwazi: yayasa olwazi amazzi ne gavaamu.
22“Tewali mirembe eri aboonoonyi,” bw’ayogera Mukama.
Isaaya
Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.
© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0