Isaaya 9
Luganda Contemporary Bible (Biblica)
1Naye tewaliba kizikiza eri oyo eyali mu kubonaabona. Edda yatoowaza ensi ya Zebbulooni n’ensi ya Nafutaali, naye mu kiseera ekijja aliwa Ggaliraaya ekitiibwa, ensi ey’abamawanga emitala wa Yoludaani, awali ekkubo erigenda ku nnyanja.
2Abantu abaatambuliranga mu kizikiza balabye ekitangaala eky’amaanyi, abo abaatuulanga mu nsi ey’ekizikiza ekingi, omusana gubaakidde.
3Oyazizza eggwanga, obongedde essanyu, basanyukira mu maaso go ng’abantu bwe basanyuka mu biseera eby’amakungula, ng’abasajja bwe basanyuka nga bagabana omunyago.
4Nga ku lunaku Abamidiyaani lwe baawangulwa, omenye ekikoligo ekyamuzitoowereranga, n’ekiti eky’oku kibegabega kye, n’oluga lw’oyo amunyigiriza.
5Kubanga buli ngatto ya mulwanyi ekozesebwa mu lutalo na buli kyambalo ekibunye omusaayi, biriba bya kwokebwa, bye birikozesebwa okukoleeza omuliro.
6Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe, omwana owoobulenzi atuweereddwa ffe, n’okufuga kunaabanga ku bibegabega bye. N’erinnya lye aliyitibwa nti, Wa kitalo, Omuwi w’amagezi, Katonda Ayinzabyonna, Kitaffe ow’Emirembe Gyonna, Omulangira w’Emirembe.
7Okufuga kwe n’emirembe biryeyongeranga obutakoma. Alifugira ku ntebe ya Dawudi ne ku bwakabaka bwe, n’okubuwanirira n’obwenkanya n’obutuukirivu okuva leero okutuusa emirembe gyonna. Obumalirivu bwa Mukama Katonda ow’Eggye bulikituukiriza ekyo.
8Mukama yaweereza obubaka obukwata ku Yakobo, ku birituuka ku Isirayiri.
9Era abantu bonna balibumanya, Efulayimu n’abantu b’omu Samaliya aboogera n’amalala n’omutima omukakanyavu,
10nti, “Amatoffaali gagudde wansi naye tulizimbya amayinja amateme, emisukamooli gitemeddwawo naye tulizzaawo emivule.”
11Mukama Katonda kyaliva awa abalabe ba Lezini amaanyi bamulumbe; alibakumaakuma bamulumbe.
12Abasuuli balisinziira mu buvanjuba, n’Abafirisuuti bave ebugwanjuba, balyoke basaanyeewo Isirayiri n’akamwa akaasamye. Newaakubadde nga biri bityo, obusungu bwa Mukama buliba tebunnavaawo era omukono gwe guliba gukyagoloddwa.
13Kubanga abantu tebakyuse kudda wadde okunoonya Mukama Katonda ow’Eggye eyabakuba.
14Bw’atyo Mukama Katonda kyaliva asala ku Isirayiri, omutwe n’omukira, ettabi n’olukindu mu lunaku lumu.
15Omutwe be bakadde n’abantu ab’ekitiibwa, n’omukira be bannabbi abayigiriza eby’obulimba.
16Kubanga abakulembera abantu bano bababuzaabuuza, n’abo abakulemberwa babuzibwabuzibwa.
17Noolwekyo, Mukama tajja kusanyukira bavubuka, wadde okukwatirwa ekisa abo abataliiko ba kitaabwe wadde bannamwandu; kubanga buli omu mukozi wa bibi, era buli kamwa konna kogera eby’obuwemu. Olwa bino byonna, obusungu bwa Mukama tebunakyusibwa kubavaako, era omukono gwe gukyagoloddwa.
18Ddala ekibi kyokya ng’omuliro; gumalawo emyeramannyo n’obusaana. Era gukoleeza eby’omu kibira, omukka ne gunyooka ne gutumbiira waggulu.
19Olw’obusungu bwa Mukama Katonda ow’Eggye ensi eggiiridde ddala, era n’abantu bali ng’enku ez’okukuma omuliro, tewali muntu alekawo muganda we.
20Balimalawo eby’oku mukono ogwa ddyo, naye balisigala bayala; balirya n’eby’oku kkono, naye tebalikkuta. Buli omu alirya ku mubiri gw’ezzadde lye.
21Manase alirya Efulayimu ne Efulayimu n’alya Manase ate bombi ne balya Yuda. Naye wadde nga biri bityo, obusungu bwa Mukama buliba tebunnavaawo, era n’omukono gwe guliba gukyagoloddwa.
Isaaya
Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.
© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0