Isaaya 42
Luganda Contemporary Bible (Biblica)
1Laba omuweereza wange gwe mpanirira, omulonde wange gwe nsanyukira ennyo. Ndimuwa Omwoyo wange era alireeta obwenkanya eri amawanga.
2Talireekaana wadde okuyimusa eddoboozi lye mu luguudo.
3Talimenya lumuli lubetentefu oba okuzikiza olutambi olwaka empola ennyo; mu bwesigwa alireeta obwenkanya.
4Taliremererwa oba okuggwaamu essuubi okutuusa ng’aleesewo obutebenkevu ku nsi. N’ebizinga eby’ewala biririndirira amateeka ge.
5Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda, eyatonda eggulu n’alibamba. Eyayanjuluza ensi ne byonna ebigivaamu; awa omukka abantu baakwo era n’obulamu eri bonna abagitambulirako.
6“Nze Mukama, nakuyita mu butuukirivu. Ndikukwata ku mukono era ndikukuuma. Ndikufuula okuba endagaano eri abantu, era omusana eri bannamawanga.
7Okuzibula amaaso g’abazibe, okuta abasibe okuva mu makomera n’okuggya abo abali mu bunnya, abo abali mu kizikiza.
8“Nze Mukama, eryo lye linnya lyange, n’ekitiibwa kyange sirikiwa mulala, newaakubadde ettendo lyange okukiwa bakatonda abalala.
9Laba, ebyo bye nagamba nti biribaawo bituuse, kaakano mbabuulira ku bigenda okujja; mbibategeeza nga tebinnabaawo.”
10Muyimbire Mukama oluyimba oluggya, ettendo lye okuva ku nkomerero y’ensi! Mmwe abasaabala ku nnyanja ne byonna ebigirimu, mmwe ebizinga ne bonna ababibeeramu.
11Leka eddungu n’ebibuga byamu biyimuse amaloboozi gaabyo, ebyalo Kedali mw’atuula. Leka abantu b’e Seera bayimbe n’essanyu. Leka baleekaanire waggulu ku ntikko z’ensozi.
12Leka Mukama bamuwe ekitiibwa era balangirire ettendo lye mu bizinga.
13Mukama, anafuluma okulwana ng’omutabaazi ow’amaanyi, era ng’omutabaazi ow’amaanyi alijja yeeswanta, n’okuleekaana ng’alangirira olutalo. Era aliwangula abalabe be.
14“Ebbanga ggwanvu nga siriiko kye ŋŋamba, nga nsirise neekuumye. Naye okufaanana ng’omukazi alumwa okuzaala, nkaaba, mpejjawejja era nzisa ebikkowe.
15Ndizikiriza ensozi n’obusozi, egyo emiddo gyakwo gyonna ndi wakugiwotosa. Era ndikaza ebinywa byabwe byonna n’emigga ndigifuula ebizinga.
16Era ndikulembera abantu bange abazibe ba maaso mu kkubo lye batamanyi n’abayise mbaluŋŋamize mu makubo ge batamanyidde. Ndifuula ekizikiza okuba omusana mu maaso gaabwe n’ebifo ebizibu okuyitamu ndibirongoosa. Ebyo by’ebintu bye ndikola, sirireka bantu bange.
17Naye abo abeesiga bakatonda abalala, ababagamba nti, ‘Mwe bakatonda baffe,’ balikwasibwa ensonyi, era baligobebwa, mu buswavu obungi.”
18“Muwulire mmwe bakiggala, mutunule mmwe bamuzibe, mulabe.
19Ani muzibe okuggyako omuweereza wange, oba kiggala okuggyako omubaka wange gwe ntuma? Eriyo eyaziba amaaso asinga oyo eyeewaayo gye ndi, oba omuzibe ng’omuweereza wa Mukama?
20Olabye ebintu bingi naye tobifuddeko, amatu go maggule naye tolina ky’owulira.”
21Kyasanyusa Mukama olw’obulungi obw’obutuukirivu bwe okukuza amateeka ge n’okugassaamu ekitiibwa.
22Naye bano, bantu be, ababbibwa ne banyagibwa bonna ne basibibwa mu binnya oba abasibibwa mu makomera. Bafuuka munyago nga tewali n’omu abanunula, bafuuliddwa abanyage nga tewali n’omu agamba nti, “Bateebwe baddeyo.”
23Ani ku mmwe anaawuliriza kino, oba anaafaayo ennyo n’awuliriza mu biro ebigenda okujja?
24Ani eyawaayo Yakobo okuba omunyago ne Isirayiri eri abanyazi? Teyali Mukama gwe twayonoona? Ekyo yakikola kubanga tebaagoberera makubo ge. Tebaagondera mateeka ge.
25Kyeyava abafukako obusungu bwe obubuubuuka n’obulumi bw’entalo. Beebungululwa ennimi z’omuliro naye tebaategeera. Gwabookya naye ne batakissaako mwoyo.
Isaaya
Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.
© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0