Isaaya 65

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

1Mukama n’alyoka agamba nti, “Nze nnali mwetegefu okweyoleka eri abo abaali tebannoonya. Neeraga abo abaali tebannoonya. Eri eggwanga eryali litakoowoola linnya lyange nneyoleka gye bali ng’aŋŋamba nti, ‘Ndi wano, Ndi wano.’

2Nagolola emikono gyange olunaku lwonna okutuusa obudde okuziba eri abantu abeewagguzze, abatambulira mu makubo amabi abagoberera entegeka ezaabwe ku bwabwe;

3abantu bulijjo abansomooza mu maaso gange gennyini nga bawaayo ebiweebwayo mu nnimiro ne bookera n’ebiweebwayo ku byoto eby’amatoffaali;

4abatuula mu malaalo ne bamalako ekiro kyonna mu bifo ebyekusifu, abalya ennyama y’embizzi, era n’amaseffuliya gaabwe gajjudde ennyama etali nnongoofu.

5Bagamba nti, ‘Beera wala, tojja kumpi nange, kubanga ndi mutuukirivu nnyo ggwe okunsaanira!’ Abantu bwe batyo mukka mu nnyindo zange, omuliro ogwaka olunaku lwonna.

6“Laba kiwandiikiddwa mu maaso gange. Sijja kusirika naye nzija kusasula mu bujjuvu, nzija kubasasula bibatuukireko ddala;

7olw’ebibi byammwe byonna era n’olw’ebibi bya bakitammwe,” bw’ayogera Mukama Katonda. “Kubanga baayokera ebiweebwayo byabwe ku lusozi era ne bannyoomera ku busozi, ndibalira mu mikono gyabwe empeera yennyini enzijuvu ey’ebikolwa byabwe eby’edda.”

8Bw’atyo bw’ayogera Mukama: “Ng’omubisi bwe gusangibwa mu kirimba ky’emizabbibu abantu ne bagamba nti, ‘Togwonoona, gukyalimu akalungi,’ bwe ntyo bwe ndikibakolera olw’obulungi bw’abaweereza bange. Sijja kubasaanyaawo bonna.

9Ndiggya ezzadde okuva mu Yakobo era ne mu Yuda abo abalitwala ensozi zange; abantu bange abalonde balizigabana, era eyo abaweereza bange gye balibeera.

10Awo Saloni kiribeera ddundiro lya bisibo, era n’ekiwonvu kya Akoli kifo kya nte we zigalamira olw’abantu bange abannoonya.

11“Naye mmwe abava ku Mukama ne mwerabira olusozi lwange olutukuvu ne muteekerateekera emmeeza katonda wammwe, Mukisa, ne mujuliza katonda wammwe, Kusalawo, ebikopo eby’envinnyo,

12ndibawaayo eri ekitala era mwenna mukutaamirire musalibwe, kubanga nabayita naye temwayitaba, nayogera naye temwampuliriza. Mwakola ebitasaana era ne musalawo okukola ebitansanyusa.”

13Noolwekyo kino Mukama Ayinzabyonna ky’agamba: “Abaweereza bange bajja kulya, naye mmwe mujja kulumwa enjala, abaweereza bange bajja kunywa, naye mmwe mulumwe ennyonta; abaweereza bange bajja kujaguza, naye mmwe mukwatibwe ensonyi.

14Abaweereza bange bajja kuyimba olw’essanyu erinaaba mu mitima gyabwe, naye mmwe muli ba kukaaba olw’okulumwa okunaabeera mu mitima gyammwe era mukaabe olw’okulumwa emyoyo.

15Ekikolimo kiryoke kibagwire, Nze Mukama Katonda ow’Eggye mbatte amannya gammwe geerabirwe, naye mpe amannya amaggya abo abaŋŋondera.

16Kiryoke kibeere nti buli muntu ananoonya okufuna omukisa anaagunoonya kuva eri Katonda Ow’amazima buli anaalayiranga mu ggwanga anaalayiranga Katonda ow’amazima. Kubanga emitawaana egyayita gya kwerabirwa gikwekebwe okuva mu maaso gange.

17“Laba nditonda eggulu eriggya n’ensi empya. Ebintu eby’edda tebijja kujjukirwa wadde okulowoozebwako mu mutima.

18Naye musanyukire ekyo kye ntonda mujaguze emirembe n’emirembe, kubanga nditonda Yerusaalemi okuba essanyu n’abantu baamu okuba okujaguza.

19Ndijaguza olwa Yerusaalemi era nsanyukire abantu bange; amaloboozi ag’okukaaba tegaliddayo kuwulirwamu.

20“Teriddayo kuba mu kyo mwana muwere anaaberawo ennaku obunaku, oba omusajja omukulu ataamalengayo myaka gye; oyo alifiira ku myaka ekikumi alitwalibwa ng’omuvubuka obuvubuka. Oyo atalituusa kikumi abalibwe ng’eyakolimirwa.

21Balizimba ennyumba bazisulemu, balisimba emizabbibu balye ebibala byagyo.

22Tebalizimba nnyumba ate omulala agisulemu, tebalisimba ate omulala abirye. Kubanga emyaka gy’emiti nga bwe giba bwe gityo bwe giribeera emyaka gy’abantu bange. Abalonde bange balirwawo nga bawoomerwa emirimu gy’emikono gyabwe.

23Tebalikolera bwereere oba okuzaala abaana ab’okugwa mu katyabaga, kubanga balibeera abantu abaweebwa Mukama Katonda omukisa, bo awamu n’ab’enda yaabwe.

24Nga tebanakoowoola ndibaddamu, nga bakyayogera bati mbaddemu.

25Omusege n’omwana gw’endiga biriire wamu, era empologoma erye omuddo ng’ennume, era ettaka libeere emmere y’omusota. Tewaliba kulumya wadde kuzikiriza ku lusozi lwange olutukuvu,” bw’ayogera Mukama Katonda.

Isaaya

Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0