Oluyimba 8
Luganda Contemporary Bible (Biblica)
1Singa wali muganda wange eyakuzibwa mmange era eyayonka amabeere ga mmange, nandikusanze ebweru nandikunywegedde ne wataba n’omu annyooma.
2Nandikukulembedde ne nkuleeta mu nnyumba ya mmange, oyo eyangigiriza. Nandikuwadde wayini okunywa ng’alimu ebyakaloosa, omubisi ogw’amakomamawanga gange.
3Omukono gwe ogwa kkono guli wansi wa mutwe gwange n’omukono gwe ogwa ddyo gumpambaatira.
4Mmwe abawala ba Yerusaalemi mbakuutira, temusiikuula newaakubadde okuzuukusa okwagala okutuusa ng’ekiseera ekituufu kituuse.
5Ani oyo gwe tulengera ng’ava mu ddungu nga yeesigamye muganzi we? Nakuzuukusa ng’oli wansi w’omuti ogw’omucungwa. Eyo maama wo gye yafunira olubuto era eyo maama wo gye yakuzaalira mu bulumi obungi.
6Nteeka ng’akabonero ku mutima gwo, era ng’akabonero ku mukono gwo, kubanga okwagala kwa maanyi ng’okufa, obuggya bwakwo buli ng’obusungu obw’emagombe. Kwaka ng’ennimi ez’omuliro, omuliro ogwaka n’amaanyi ennyo.
7Amazzi amangi tegamalaawo nnyonta ya kwagala n’emigga tegiyinza kukumalawo. Singa omuntu awaayo obugagga bwe bwonna obw’ennyumba ye okufuna okwagala, asekererwa nnyo.
8Tulina muto waffe atannamera mabeere, naye tulikola tutya bw’alituuka okwogerezebwa?
9Singa abadde bbugwe twandimuzimbyeko eminaala egya ffeeza, singa abadde luggi twandimuggalidde na mivule.
10Ndi bbugwe era n’amabeere gange gali ng’ekitikkiro, noolwekyo mu maaso ge, mmufuukidde aleeta emirembe.
11Sulemaani yalina ennimiro y’emizabbibu e Baaluka Kamooni, n’agisigira abalimi. Buli omu ku bo yamusalira ebitundu bya ffeeza lukumi.
12Ennimiro yange ey’emizabbibu, yange, ebitundu olukumi bibyo ggwe Sulemaani, ebitundu ebikumi bibiri by’abo abalabirira ennimiro.
13Ggwe abeera mu nnimiro ne mikwano gyo nga weebali, ka mpulire eddoboozi lyo.
14Yanguwa okuvaayo eyo, odduke mangu ng’empeewo oba ng’ennangaazi ento, oddukire ku nsozi ezijjudde ebyakaloosa.
Oluyimba
Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.
© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0