Oluyimba 6

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

1Muganzi wo alaze wa, ggwe akira abakyala bonna obulungi? Muganzi wo yakutte lya wa tumukunoonyezeeko?

2Muganzi wange aserengese mu nnimiro ye, mu misiri egy’ebirime ebyakaloosa, okulabirira ennimiro ye n’okunoga amalanga.

3Muganzi wange, wange, nange ndi wuwe; anoonyeza mu malanga.

4Oli mubalagavu nga Tiruza, omwagalwa wange, omulungi nga Yerusaalemi, era ow’ekitiibwa ng’eggye eririna ebendera.

5Tontunuulira nnyo kubanga amaaso go gantawanya. Enviiri zo ziri ng’ekisibo eky’embuzi, eziserengeta okuva e Gireyaadi.

6Amannyo go gali ng’ekisibo eky’endiga eziva okunaazibwa; buli emu nnongo eri n’ennongo ginnaayo, so tewali eri yokka.

7Obwenyi bwo bw’obisse mu lugoye, buli ng’ebitundu by’amakomamawanga.

8Ne bwe walibeerawo bakabaka abakazi nkaaga, n’abazaana kinaana, n’abawala embeerera abatamanyiddwa muwendo,

9ejjiba lyange, owange ataliiko bbala, ow’enjawulo, mwana muwala eyazaalibwa yekka, ayagalibwa ennyo nnyina okusinga abalala, y’ansingira mu bonna. Abawala baamulaba ne bamuyita wa mukisa; bakabaka abakazi n’abazaana baamutenda.

10Ani ono alabika ng’emmambya, omulungi ng’omwezi, atangalijja ng’enjuba, alina ekitiibwa ng’eky’emunnyeenye?

11Naserengeta mu nnimiro ey’emiti egy’ensigo okwetegereza okumulisa okw’ebimera eby’omu kiwonvu, okulaba omuzabbibu obanga gwamulisa, n’okulaba emikomamawanga oba nga gyamera.

12Bwe nnali nkyali awo emmeeme yange n’egenda eri amagaali ag’obwakabaka ag’omu bantu bange.

13Komawo, Komawo, ggwe Omusulamu; komawo, komawo tukutunuleko. Lwaki mutunuulira Omusulamu ng’abali ku mazina ga Makanayimu?

Oluyimba

Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0