Oluyimba 1

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

1Oluyimba lwa Sulemaani olusinga ennyimba zonna.

2Leka annywegere n’emimwa gye kubanga okwagala kwo kusinga envinnyo,

3n’amafuta go gawunya akaloosa akalungi; erinnya lyo liri ng’amafuta agattululwa, era abawala kyebava bakwagala.

4Baako ne gy’ontwala, yanguwa! Kabaka ansembezezza kumpi nnyo antutte mu bisenge bye. Tunaasanyuka ne tukujagulizaamu; era tunaatendereza okwagala kwo okusinga envinnyo. Nga batuufu okukwegomba!

5Ndi muddugavu, ndi mulungi, Mmwe abawala ba Yerusaalemi muli ng’eweema ez’e Kedali, era ng’entimbe za Sulemaani.

6Temuntunuulira kubanga ndi muddugavu, olw’okuba omusana gunjokezza. Batabani ba mmange baansunguwalira; ne bandagira okukuuma ennimiro ez’emizabbibu. Ennimiro yange ngigayaaliridde.

7Ntegeeza ggwe gwe njagala, gy’oliisiza ekisibo kyo, ne gy’owumuliza endiga zo mu ssaawa ez’omu ttuntu. Lwaki mbeera ng’omukazi eyeebisse amaaso nga nninaanye ebisibo eby’abanywanyi bo?

8Bw’oba nga tomanyi, ggwe omukyala asinga bonna obulungi, goberera ekkubo endiga lye zikutte, ogende oliisize embuzi zo ento, okumpi n’eweema z’abasumba.

9Omwagalwa wange, nkugeraageranya n’embalaasi esika amagaali ga Falaawo.

10Amatama go galabika bulungi ng’oyambadde ebikomo eby’oku matu, n’ensingo yo nerabika bulungi ng’erimu eby’omu bulago eby’omuwendo.

11Tunaakukolera eby’oku matu ebya zaabu, nga birina amapeesa aga ffeeza.

12Kabaka bwe yali ng’atudde ku mmeeza ye, akawoowo kange ne kamuwunyira bulungi.

13Muganzi wange ali ng’ensawo eya kaloosa aka mooli gye ndi, ng’awummulidde mu kifuba kyange.

14Muganzi wange ali ng’ekiganda eky’ebimuli ebya kofera ebivudde mu nnimiro ez’emizabbibu ez’e Engedi.

15Laba, oli mubalagavu, omwagalwa wange oli mubalagavu olabika bulungi. Amaaso go mayiba.

16Olabika bulungi muganzi wange, era onsanyusa. Ekitanda kyaffe kya muddo muto.

17Emikiikiro gy’ennyumba yaffe mivule, n’enzooba zaffe nkanaga.

Oluyimba

Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0