Oluyimba 7
Luganda Contemporary Bible (Biblica)
1Ebigere byo nga birabika bulungi mu ngatto, ggwe omumbejja! Amagulu go gali ng’amayinja ag’omuwendo, omulimu gw’omuweesi omukalabakalaba.
2Ekkundi lyo kibya kyekulungirivu, ekitaggwaamu nvinnyo entabule obulungi. Ekiwato kyo ntuumu ya ŋŋaano eyeetooloddwa amalanga.
3Amabeere go gali ng’abaana b’empeewo, abalongo.
4Ensingo yo eri ng’omunaala ogw’amasanga. Amaaso go gali ng’ebidiba eby’omu Kesuboni ebiri ku mulyango ogw’e Basulabbimu. Ennyindo yo eri ng’omulongooti ogw’e Lebanooni ogwolekera Ddamasiko.
5Omutwe gwo gukuwoomera ng’olusozi Kalumeeri, n’enviiri zo ziranga emiguwa egy’effulungu; Kabaka asendebwasendebwa ebintu byakwo.
6Ng’olabika bulungi, ng’osanyusa ggwe omwagalwa n’obulungi bwo.
7Oli muwanvu ng’olukindu, n’amabeere go gali ng’ebirimba eby’ebibala byakwo.
8Nayogera nti, “Ndirinnya olukindu, era ndikwata ebibala byalwo.” Amabeere go gabeere ng’ebirimba eby’oku muzabbibu, n’akawoowo ak’omu kamwa ko ng’ebibala eby’omucungwa
9n’akamwa ko nga nvinnyo esinga obulungi. Ne wayini amirwe bulungi muganzi wange, ng’akulukuta mpola mpola ku mimwa gy’abo abeebase.
10Ndi wa muganzi wange, era naye anjagala nnyo.
11Jjangu, muganzi wange tugende ebweru w’ekibuga, tusuleko mu byalo.
12Tukeere tugende mu nnimiro z’emizabbibu, tulabe obanga emizabbibu gimulisizza, obanga n’ebimuli byagwo byanjuluzza, obanga n’emikomamawanga gimulisizza, era eyo gye nnaakulagira okwagala kwange.
13Amadudayimu gawunya akawoowo, ne ku miryango gyaffe waliwo ebibala ebisinga obulungi, Ebyakanogebwa awamu n’ebikadde, bye nkuterekedde muganzi wange.
Oluyimba
Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.
© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0