Ennyiriri za Bayibuli ku Enjiri n'Obulokozi

Enjiri ye mawulire amalungi nti Katonda alokola aboonoonyi olw'ekisa, olw'okukkiriza, ku musingi gw'omulimu Kristo gwe yamaliriza. Kubanga olw'ekisa mwalokolebwa olw'okukkiriza; era ekyo si kya mmwe, kirabo kya Katonda. Ennyiriri zino zibikkula obulokozi okuva mu kuzaalibwa okupya n'okwenenya okutuuka ku kuwebwa obutuukirivu n'okufuulibwa abaana ba Katonda.

Enjiri n'Ekisa

Enjiri — Abaruumi 1:16

Enjiri tenkwasa nsonyi: kubanga ge maanyi ga Katonda agalokola buli muntu akkiriza, okusooka eri Omuyudaaya n’eri Omunnamawanga.

Ekirabo eky'Obwereere — Abaruumi 6:23

Empeera y’ekibi kwe kufa, naye ekirabo kya Katonda, bwe bulamu obutaggwaawo mu Yesu Kristo Mukama waffe.

Okulokolebwa olw'Ekisa — Tito 3:5

n’atulokola, si lwa bikolwa eby’omu butuukirivu bye twakola, wabula olw’okusaasira kwe mu kunaazibwa okw’okuzaalibwa okw’omulundi ogwokubiri n’okufuulibwa abaggya olwa Mwoyo Mutukuvu,

Ekisa n'Ebikolwa — Abaefeso 2:9

Tekwatuweebwa lwa bikolwa byaffe; noolwekyo omuntu yenna aleme okwenyumirizanga.

Amawulire Amalungi eri Abaavu — Lukka 4:18

“Omwoyo wa Mukama ali ku nze. Anfuseeko amafuta okubuulira abaavu Enjiri. Antumye okubuulira abasibe okuteebwa, n’abazibe b’amaaso okuzibulwa amaaso balabe, n’abanyigirizibwa okufuna eddembe,

Ekisa Ekimala — 2 Abakkolinso 12:9

Buli mulundi ng’aŋŋamba nti, “Ekisa kyange kikumala, kubanga amaanyi gange gatuukirira mu bunafu.” Noolwekyo kyennaavanga nneegulumiza n’essanyu lingi olw’obunafu bwange, amaanyi ga Kristo galyoke galabisibwe.

Ekisa ku Kisa — Yokaana 1:16

Ku kujjula kwe ffenna kwe twagabana ekisa ekisukiridde ekisa.

Okuweebwa Obutuukirivu obwa Buwa — Abaruumi 3:24

Kyokka twaweebwa obutuukirivu bwa buwa olw’ekisa kye ekiri mu kununulibwa okuli mu Yesu Kristo;

Obugagga bw'Ekisa — Abaefeso 2:7

Ekyo Katonda yakikola alyoke alage, mu mirembe egigenda okujja, ekisa kye ekingi kye yatukwatirwa mu Kristo Yesu.

Ekisa Ekiyigiriza — Tito 2:11-12

Kubanga ekisa kya Katonda ekireetera abantu bonna obulokozi kirabise, era kituyigiriza tuleke obutatya Katonda, n’okwegomba kw’ensi, tulyoke tube beegendereza, abatuukirivu abatya Katonda nga tuli mu mulembe gwa kaakano;

Okutabaganyizibwa ne Katonda — Abaruumi 5:10

Kale obanga bwe twali tukyali balabe ba Katonda twatabaganyizibwa naye mu kufa kw’Omwana we, bwe tutabagana naye tetulisingawo nnyo okulokolebwa olw’obulamu bwe?

Ekyama ky'Enjiri — Abakkolosaayi 1:26

Ekyama ekyakwekebwa okuva edda n’edda lyonna, n’emirembe n’emirembe, kaakano kibikkuliddwa abantu be, be batukuvu be.

Obulokozi n'Okuzaalibwa Obuggya

Obulokozi — Abaruumi 10:9

Bw’oyatula n’akamwa ko nti, Yesu ye Mukama, n’okkiriza n’omutima gwo nga Katonda yamuzuukiza mu bafu, olokoka.

Okuzaalibwa Omulundi Ogwokubiri — Yokaana 3:3

Yesu n’amuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti, Omuntu bw’atazaalibwa mulundi gwakubiri tayinza kulaba bwakabaka bwa Katonda.”

Ekitonde Ekiggya — 2 Abakkolinso 5:17

Noolwekyo omuntu yenna bw’abeera mu Kristo, aba kitonde kiggya; eby’edda nga bigenze, laba ng’afuuse muggya.

Obulamu Obutaggwaawo — Yokaana 3:16

“Kubanga Katonda bwe yayagala ensi, bw’atyo n’awaayo Omwana we omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme kuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo.

Okukkiriza Okulokola — Abaefeso 2:8

Mwalokolebwa lwa kisa olw’okukkiriza. Tekwava mu mmwe, wabula kirabo kya Katonda.

Okuva mu Kufa Okudda mu Bulamu — Yokaana 5:24

“Ddala ddala mbagamba nti, Awulira ebigambo byange, n’akkiriza eyantuma, aba n’obulamu obutaggwaawo, era talisingibwa musango, kubanga aliba avudde mu kuzikirira ng’atuuse mu bulamu.

Okwatula n'Okukkiriza — Abaruumi 10:9-10

Bw’oyatula n’akamwa ko nti, Yesu ye Mukama, n’okkiriza n’omutima gwo nga Katonda yamuzuukiza mu bafu, olokoka. Kubanga omuntu akkiriza na mutima gwe n’aweebwa obutuukirivu, era ayatula na kamwa ke n’alokoka.

Buli Akaaba Erinnya lye — Abaruumi 10:13

Buli alikoowoola erinnya lya Mukama alirokoka.

Omulyango Omufunda — Matayo 7:13-14

“Muyingirire mu mulyango omufunda! Kubanga ekkubo erigenda mu kuzikirira ddene n’omulyango mugazi, n’abalonda ekkubo eryo bangi. Kubanga omulyango mufunda, n’ekkubo eridda eri obulamu ffunda, era n’abaliraba batono.”

Essuubi Eriramu — 1 Peetero 1:3

Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo atenderezebwe. Olw’okusaasira kwe okungi twazaalibwa mu bulamu obulina essuubi omulundi ogwokubiri, olw’okuzuukira kwa Yesu Kristo mu bafu.

Okununulibwa mu Kizikiza — Abakkolosaayi 1:13

Katonda eyatuwonya n’atuggya mu maanyi g’ekizikiza aga Setaani, n’atutwala mu bwakabaka bw’Omwana we omwagalwa,

Buli Akkiriza — Yokaana 3:36

Oyo akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo, naye oyo atakkiriza Mwana, taliraba bulamu era Katonda amusunguwalira.”

Olwaleero lwe Lunaku — 2 Abakkolinso 6:2

Kubanga agamba nti, “Nakuwulira mu biro ebituufu, era ne nkuyamba ku lunaku olw’obulokozi.” Laba kaakano kye kiseera ekituufu, era laba kaakano lwe lunaku olw’obulokozi.

Okwenenya n'Okusonyiyibwa

Okwenenya — Ebikolwa by’Abatume 3:19

Noolwekyo mwenenye, mukyuke, mulyoke mugibweko ebibi byammwe,

Okusonyiyibwa ebibi — 1 Yokaana 1:9

Naye bwe twatula ebibi byaffe, ye mwesigwa era mutuukirivu okutusonyiwa n’okutunaazaako obutali butuukirivu bwonna.

Okwatula — Zabbuli 32:5

Awo ne nkwatulira ekibi kyange, ne sibikkirira kwonoona kwange. Ne njogera nti, “Leka neenenyeze Mukama ebibi byange.” Bw’otyo n’onsonyiwa, n’onziggyako omusango gw’ebibi byange.

Okukyukira Katonda — Yoweeri 2:13

Muyuze emitima gyammwe so si byambalo byammwe. Mudde eri Mukama Katonda wammwe, kubanga ajjudde ekisa n’okusaasira, era tasunguwala mangu; ajjudde okwagala okutaggwaawo; n’abandisaanidde okubonerezebwa abasonyiwa.

Okulongoosebwa — Isaaya 1:18

“Mujje nno tukubaganye ebirowoozo,” bw’ayogera Mukama; “ebibi byammwe ne bwe biba ng’olugoye olumyufu binaafuuka byeru ng’omuzira, ne bwe binaaba bitwakaavu nga langi emyufu enkwafu, binaatukula ng’ebyoya by’endiga.

Omutima Omulongoofu — Zabbuli 51:10

Ontondemu omutima omulongoofu, Ayi Katonda, era onteekemu omwoyo omulungi munda yange.

Ennaku ey'Eri Katonda — 2 Abakkolinso 7:10

Kubanga okunakuwala okw’okwenenya eri Katonda kuleeta obulokozi, era tekuleeta kwejjusa; naye okunakuwala okw’ensi kuleeta kufa.

Nga Ebuvanjuba bwe Yeesuddeko Ebugwanjuba — Zabbuli 103:12

Ebibi byaffe abituggyako n’abitwala wala ng’ebuvanjuba bw’eri ewala okuva ebugwanjuba.

Ebibi Bitajjukirwa Nate — Abaebbulaniya 8:12

Era ndibasaasira, n’ebibi byabwe siribijjukira nate.”

Mudde eri Mukama — Koseya 6:1

“Mujje, tudde eri Mukama. Atutaaguddetaagudde, naye alituwonya; atuleeseeko ebiwundu, naye ebiwundu alibinyiga.

Okudda kw'Omwana Eyabula — Lukka 15:18-20

Nnaagenda eri kitange, mugambe nti, Kitange, nnyonoonye eri eggulu ne mu maaso go, era sikyasaanira na kuyitibwa mwana wo. Nfunira omulimu mbeere ng’abapakasi bo.’ Bw’atyo n’asitula n’addayo ewa kitaawe. “Naye bwe yali ng’akyaliko wala n’awaka, kitaawe n’amulengera ng’ajja, n’amusaasira nnyo. Kitaawe ng’ajjudde amaziga n’amusisinkana, n’amugwa mu kifuba n’amunywegera.

Komyawo Essanyu — Zabbuli 51:12

Onkomezeewo essanyu ery’obulokozi bwo, era ompe omutima ogugondera by’oyagala,

Okuweebwa Obutuukirivu, Okufuulibwa Abaana n'Obutuukirivu

Okuweebwa Obutuukirivu olw'Okukkiriza — Abaruumi 5:1

Kale nga bwe twaweebwa obutuukirivu olw’okukkiriza tulina emirembe ne Katonda, mu Mukama waffe Yesu Kristo,

Okufuulibwa Omutuukirivu — 2 Abakkolinso 5:21

Kubanga oyo ataamanya kibi, yafuuka ekibi ku lwaffe, tulyoke tufune obutuukirivu obuva eri Katonda mu Yesu.

Okufuulibwa Abaana — Abaggalatiya 4:5

eyazaalibwa omukazi ng’afugibwa amateeka, tulyoke tufuuke abaana.

Abaana ba Katonda — Yokaana 1:12

Naye bonna abaamusembeza, yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda; be bo abakkiriza erinnya lye.

Abasika wamu ne Kristo — Abaruumi 8:17

Kale nga bwe tuli abaana, tuli basika ba Katonda, era tulisikira wamu ne Kristo, bwe tubonaabonera awamu naye, tulyoke tuweerwe wamu naye ekitiibwa.

Okukkiriza Kwokka — Abaruumi 3:28

Noolwekyo omuntu aweebwa obutuukirivu lwa kukkiriza so si lwa kugoberera mateeka.

Tewali Kusalirwa Musango — Abaruumi 8:1

Noolwekyo abo abali mu Kristo Yesu, tebaliiko musango; abo abatagoberera kwegomba okw’omubiri wabula ne bagoberera Omwoyo.

Okubalibwa Omutuukirivu — Abaruumi 4:5

Katonda tayinza kukusembeza olw’ebikolwa byo. Katonda asembeza aboonoonyi olw’okukkiriza kwe balina mu ye.

Obutuukirivu bwa Katonda — Abafiripi 3:9

ndabikire mu ye nga sirina butuukirivu bwange ku bwange obuva mu kukwata amateeka, wabula nga nnina obutuukirivu obuva mu kukkiriza Kristo, era obuva eri Katonda obwesigamye ku kukkiriza.

Aba, Kitaffe — Abaruumi 8:15

Temwaweebwa mwoyo gwa buddu ate mutye, wabula mwaweebwa Omwoyo eyabafuula abaana, era ku bw’oyo tumukoowoola nti, “ Aba, Kitaffe.”

Okulangirirwa nga Tolina Musango — Abaruumi 8:33

Ani aliroopa abalonde ba Katonda? Katonda y’awa obutuukirivu.

Ekirabo ky'Obutuukirivu — Abaruumi 5:17

Obanga olw’okwonoona kw’omuntu omu okufa kwabuna, abaliweebwa ekisa kya Katonda n’ekirabo eky’obutuukirivu, tebalisinga nnyo okufugira mu bulamu olw’omuntu omu Yesu Kristo?