Ennyiriri za Bayibuli ku Obugagga bw'Ekisa
Ennyiriri za Bayibuli 6 ku Obugagga bw'Ekisa okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Ekyo Katonda yakikola alyoke alage, mu mirembe egigenda okujja, ekisa kye ekingi kye yatukwatirwa mu Kristo Yesu.
Mu oyo mwe tununulibwa olw’omusaayi gwe, ne tusonyiyibwa ebibi, ng’obugagga bw’ekisa kye bwe buli,
Kyokka olw’okwagala kwe okungi, n’ekisa kye ekingi, ne bwe twali nga tufiiridde mu bibi byaffe, yatufuula abalamu awamu ne Kristo. Mwalokolebwa lwa kisa.
Obanga olw’okwonoona kw’omuntu omu okufa kwabuna, abaliweebwa ekisa kya Katonda n’ekirabo eky’obutuukirivu, tebalisinga nnyo okufugira mu bulamu olw’omuntu omu Yesu Kristo?
Kubanga mumanyi ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo nga bwe yafuka omwavu ku lwammwe, mwe mulyoke mugaggawale.
Kale nga Katonda wa kitalo, ng’amagezi ge mangi n’okutegeera kwe kungi era n’obugagga bungi; ensala ye ey’emisango nga tekeberekeka, n’amakubo ge tegekkaanyizika.