Ennyiriri za Bayibuli ku Ekirabo eky'Obwereere
Ennyiriri za Bayibuli 13 ku Ekirabo eky'Obwereere okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Empeera y’ekibi kwe kufa, naye ekirabo kya Katonda, bwe bulamu obutaggwaawo mu Yesu Kristo Mukama waffe.
Naye Katonda wa kisa nnyo, kubanga ekirabo kye yali agenda okutuwa, kyali kya njawulo ku kibi kya Adamu. Okwonoona kw’omuntu omu, Adamu, kwaleetera bangi okufa, kyokka ekisa kya Katonda n’ekirabo ekiri mu kisa ky’omuntu omu Yesu Kristo kyasukkirira nnyo ne kibuna mu bantu bangi.
Mwalokolebwa lwa kisa olw’okukkiriza. Tekwava mu mmwe, wabula kirabo kya Katonda. Tekwatuweebwa lwa bikolwa byaffe; noolwekyo omuntu yenna aleme okwenyumirizanga.
“Kubanga Katonda bwe yayagala ensi, bw’atyo n’awaayo Omwana we omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme kuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo.
“Kale mujje, mmwe mwenna abalumwa ennyonta, mujje eri amazzi. Mujje mmwe abatalina ssente zigula, mujje muweebwe bye mwagala, envinnyo oba amata ebitali bya kugula ebitaliiko miwendo gya kusasula.
Obanga olw’okwonoona kw’omuntu omu okufa kwabuna, abaliweebwa ekisa kya Katonda n’ekirabo eky’obutuukirivu, tebalisinga nnyo okufugira mu bulamu olw’omuntu omu Yesu Kristo?
Kale ng’abantu bonna bwe baasalirwa omusango olw’ekibi ekimu, bwe kityo n’olw’ekikolwa ekimu eky’obutuukirivu abantu bonna mwe baaweerwa obutuukirivu ne bafuna obulamu.
Omwoyo n’Omugole boogera nti, “Jjangu.” Na buli awulira ayogere nti, “Jjangu.” Buli alumwa ennyonta ajje, buli ayagala ajje anywe ku mazzi ag’obulamu ag’obuwa.
Kyokka twaweebwa obutuukirivu bwa buwa olw’ekisa kye ekiri mu kununulibwa okuli mu Yesu Kristo;
Katonda yeebazibwe olw’ekirabo ekitayogerekeka.
Buli kirabo ekirungi ekituukiridde, kiva mu ggulu eri Kitaffe, eyatonda eby’omu bbanga ebyaka, atakyukakyuka newaakubadde okwefuula ekirala.
Naye Peetero n’amugamba nti, “Ensimbi zo zizikirire naawe olw’okulowooza nti ekirabo kya Katonda kiyinza okugulibwa obugulibwa n’ensimbi.
Waliwo enjawulo nnene wakati w’ekibi kya Adamu n’ekirabo kya Katonda. Ekibi ekimu kyatuweesa ekibonerezo. Kyokka ekirabo kya Katonda kyatukkirizisa gy’ali, newaakubadde nga twonoona emirundi mingi.