Ennyiriri za Bayibuli ku Okutabaganyizibwa ne Katonda

Ennyiriri za Bayibuli 11 ku Okutabaganyizibwa ne Katonda okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Abaruumi 5:10

Kale obanga bwe twali tukyali balabe ba Katonda twatabaganyizibwa naye mu kufa kw’Omwana we, bwe tutabagana naye tetulisingawo nnyo okulokolebwa olw’obulamu bwe?

02 2 Abakkolinso 5:18

Ebintu byonna biva eri Katonda eyatukomyawo gy’ali nga tuyita mu Kristo, era ne tuweebwa obuweereza obw’okutabaganya.

03 2 Abakkolinso 5:19

Kubanga Katonda yali mu Kristo, ng’atabagana n’abantu, nga tababalira, bibi byabwe, n’atuteresa ffe obubaka obw’okutabaganya.

04 Abakkolosaayi 1:20

era mu ye ebintu byonna bitabaganyizibwa gy’ali. Yaleetawo emirembe olw’omusaayi gwe, ogwayika ku musaalaba, alyoke atabaganye eby’ensi n’eby’omu ggulu.

05 Abaruumi 5:11

So si ekyo kyokka, twenyumiririza mu Katonda, kubanga Katonda yaweereza Mukama waffe Yesu Kristo, mwe twatabaganyizibwa.

06 2 Abakkolinso 5:20

Noolwekyo ku bwa Kristo tuli babaka, era Katonda atuma ffe okwogera nammwe. Kyetuva tubeegayirira, ku bwa Kristo, mutabagane ne Katonda.

07 Abaefeso 2:13

Naye kaakano mu Kristo Yesu, mmwe abaali ewala mwasembezebwa olw’omusaayi gwa Kristo.

08 Abaefeso 2:16

alyoke atabaganye ababiri okufuuka omubiri gumu eri Katonda olw’omusaalaba, bwe yazikiririza obulabe ku gwo.

09 Abakkolosaayi 1:21-22

Edda temwali kumpi ne Katonda, era ebirowoozo byammwe n’ebikolwa byammwe ebibi bye byabalabisa ng’abakyawa Katonda. Naye kaakano mutabaganye ne Kristo olw’okufa kwe, abanjuleyo mu maaso ga Katonda nga muli batukuvu era abataliiko bbala wadde ekyokunenyezebwa.

10 Abaruumi 5:1

Kale nga bwe twaweebwa obutuukirivu olw’okukkiriza tulina emirembe ne Katonda, mu Mukama waffe Yesu Kristo,

11 1 Peetero 3:18

Kubanga ddala Kristo yabonyaabonyezebwa olw’ebibi omulundi gumu, Omuntu Omutuukirivu ku lw’abatali batuukirivu, alyoke abaleete eri Katonda bwe yattibwa mu mubiri, kyokka n’abeera mulamu mu mwoyo.

Emitwe egikwatagana