Ennyiriri za Bayibuli ku Okusonyiyibwa ebibi
Ennyiriri za Bayibuli 14 ku Okusonyiyibwa ebibi okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Naye bwe twatula ebibi byaffe, ye mwesigwa era mutuukirivu okutusonyiwa n’okutunaazaako obutali butuukirivu bwonna.
Mu oyo mwe tununulibwa olw’omusaayi gwe, ne tusonyiyibwa ebibi, ng’obugagga bw’ekisa kye bwe buli,
atusonyiwa ebibi byaffe, n’atufuula ba ddembe.
Era ne bannabbi bonna bamuweera obujulirwa nti buli amukkiriza asonyiyibwa ebibi mu linnya lye.”
Katonda ki omulala ali nga ggwe, asonyiwa ekibi era n’asonyiwa ebyonoono byabo abaasigalawo ku bantu be? Obusungu bwe tebubeerera emirembe gyonna, naye asanyukira okusaasira. Alikyuka n’atukwatirwa ekisa nate; alirinnyirira ebibi byaffe, n’asuula ebyonoono byaffe byonna mu buziba bw’ennyanja.
Ebibi byaffe abituggyako n’abitwala wala ng’ebuvanjuba bw’eri ewala okuva ebugwanjuba.
“Mujje nno tukubaganye ebirowoozo,” bw’ayogera Mukama; “ebibi byammwe ne bwe biba ng’olugoye olumyufu binaafuuka byeru ng’omuzira, ne bwe binaaba bitwakaavu nga langi emyufu enkwafu, binaatukula ng’ebyoya by’endiga.
Mwali mufudde olw’ebyonoono byammwe ne mu butakomolebwa bwammwe obw’okwegomba kw’omubiri. Katonda n’abafuula balamu wamu ne Kristo, ffenna bwe yatusonyiwa ebyonoono byaffe byonna. Bwe yasazaamu era n’aggyawo ebiragiro ebyawandiikibwa mu mateeka ebyatwolekeranga, n’abikomerera ku musaalaba,
Era ndibasaasira, n’ebibi byabwe siribijjukira nate.”
“Baweereddwa omukisa, abasonyiyiddwa ebyonoono byabwe, ne baggyibwako ebibi byabwe. Aweereddwa omukisa omuntu, Mukama gw’atalibalira kibi.”
Era mu linnya lye Enjiri ey’okwenenya n’okusonyiyibwa ebibi eribuulirwa amawanga gonna okutandikira mu Yerusaalemi.
Alina omukisa oyo asonyiyiddwa ebyonoono bye ekibi ne kiggyibwawo.
kubanga guno gwe musaayi gwange ogw’endagaano oguyiika ku lw’abantu abangi, olw’okusonyiyibwa ebibi.
Ayongerako kino nti, “Sirijjukira nate bibi byabwe newaakubadde obujeemu bwabwe.” Naye kaakano awali okusonyiyibwa ebintu ebyo, waba tewakyali kyetaagisa kuwaayo kiweebwayo olw’ebibi.