Ennyiriri za Bayibuli ku Okukyukira Katonda

Ennyiriri za Bayibuli 13 ku Okukyukira Katonda okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Yoweeri 2:13

Muyuze emitima gyammwe so si byambalo byammwe. Mudde eri Mukama Katonda wammwe, kubanga ajjudde ekisa n’okusaasira, era tasunguwala mangu; ajjudde okwagala okutaggwaawo; n’abandisaanidde okubonerezebwa abasonyiwa.

02 Ebikolwa by’Abatume 3:19

Noolwekyo mwenenye, mukyuke, mulyoke mugibweko ebibi byammwe,

03 Isaaya 55:7

Omubi aleke ekkubo lye, n’atali mutuukirivu aleke ebirowoozo bye. Leka adde eri Mukama naye anaamusaasira, adde eri Katonda waffe kubanga anaamusonyiyira ddala.

04 Ezeekyeri 18:30-32

“Kyendiva mbasalira omusango, mmwe ennyumba ya Isirayiri, buli muntu ng’ebikolwa byammwe bwe biri, bw’ayogera Mukama. Mwenenye, muleke ebikolwa ebitali bya butuukirivu, oba nga ssi weewaawo ebibi byammwe biribaleetera okuzikirira. Mweggyeeko ebikolwa byonna ebitali bya butuukirivu, bye mukoze, mufune omutima omuggya n’omwoyo omuggya. Kiki ekibaleetera okufa, mmwe ennyumba ya Isirayiri? Sisanyukira kufa kwa muntu yenna, bw’ayogera Mukama Katonda. Mwenenye mube balamu.”

05 Yakobo 4:8

Musemberere Katonda, ne Katonda anaabasembereranga. Mulongoose engalo zammwe, mmwe abakozi b’ebibi, mutukuze emitima gyammwe, mmwe abalina emyoyo egitaaganaaga.

06 Okukungubaga 3:40

Twekebere engeri zaffe, era tuzeetegereze, tudde eri Mukama.

07 Koseya 14:1-2

Mudde eri Mukama Katonda wammwe, ggwe Isirayiri. Ebibi byammwe bye bibaleetedde okugwa. Mudde eri Mukama nga mwogera ebigambo bino nti, “Tusonyiwe ebibi byaffe byonna, otwanirize n’ekisa, bwe tutyo tunaawaayo ebibala by’akamwa kaffe, ng’ebiweebwayo eby’ente ennume.

08 2 Ebyomumirembe 7:14

abantu bange abatuumiddwa erinnya lyange bwe baneetowazanga, ne basaba, ne banoonya amaaso gange, ne bakyuka okuleka amakubo gaabwe amakyamu, kale nnaawuliranga nga nsinziira mu ggulu ne nsonyiwa ekibi kyabwe era ne mponya ensi yaabwe.

09 Ebikolwa by’Abatume 26:18

okuzibula amaaso gaabwe bakyuke bave mu kizikiza badde eri omusana, n’okuva mu buyinza bwa Setaani, badde eri Katonda balyoke basonyiyibwe ebibi bafunire wamu omugabo gwa Katonda n’abo abatukuzibwa olw’okunzikiriza.’

10 1 Basessaloniika 1:9

Kubanga bo bennyini batubuulira engeri gye mwatwanirizaamu, ne bwe mwakyuka okuleka bakatonda abalala ne mudda eri Katonda omulamu era ow’amazima,

11 Yeremiya 24:7

Ndibawa omutima bammanye, nti nze Mukama. Balibeera bantu bange, nange ndibeera Katonda waabwe, kubanga balidda gye ndi n’omutima gwabwe gwonna.

12 Zekkaliya 1:3

Naye kaakano mubagambe nti: Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda ow’eggye nti, ‘Mudde gye ndi,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye, ‘nange nadda gye muli,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

13 Ekyamateeka Olwokubiri 4:29

Naye ng’oli eyo, bw’onoonoonyanga Mukama Katonda wo, onoomulabanga, singa onoomunoonyanga n’omutima gwo gwonna awamu n’omwoyo gwo gwonna.

Emitwe egikwatagana