Ennyiriri za Bayibuli ku Nga Ebuvanjuba bwe Yeesuddeko Ebugwanjuba

Ennyiriri za Bayibuli 8 ku Nga Ebuvanjuba bwe Yeesuddeko Ebugwanjuba okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Zabbuli 103:12

Ebibi byaffe abituggyako n’abitwala wala ng’ebuvanjuba bw’eri ewala okuva ebugwanjuba.

02 Mikka 7:19

Alikyuka n’atukwatirwa ekisa nate; alirinnyirira ebibi byaffe, n’asuula ebyonoono byaffe byonna mu buziba bw’ennyanja.

03 Isaaya 43:25

“Nze, Nze mwene, nze wuuyo asangula ebyonoono byo ku lwange nze, so sirijjukira bibi byo.

04 Isaaya 38:17

Ddala laba okulumwa ennyo bwe ntyo kyali ku lwa bulungi bwange, naye ggwe owonyezza obulamu bwange okugwa mu bunnya obw’okuzikirira. Kubanga otadde ebibi byange byonna emabega wo.

05 Yeremiya 31:34

Omuntu taliddayo kuyigiriza muliraanwa we, oba omusajja muganda we ng’agamba nti, ‘Manya Mukama,’ Kubanga bonna balimmanya, okuva ku asokerwako wansi okutuuka ku akomererayo waggulu,” bw’ayogera Mukama. “Kubanga ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe, n’ekibi kyabwe ne siddamu kukijjukira.”

06 Mikka 7:18

Katonda ki omulala ali nga ggwe, asonyiwa ekibi era n’asonyiwa ebyonoono byabo abaasigalawo ku bantu be? Obusungu bwe tebubeerera emirembe gyonna, naye asanyukira okusaasira.

07 Zabbuli 130:3-4

Ayi Mukama, singa otubalira obutali butuukirivu bwaffe, ani eyandiyimiridde mu maaso go? Naye osonyiwa; noolwekyo ossibwamu ekitiibwa.

08 Abaebbulaniya 8:12

Era ndibasaasira, n’ebibi byabwe siribijjukira nate.”

Emitwe egikwatagana