Ennyiriri za Bayibuli ku Okufuulibwa Abaana

Ennyiriri za Bayibuli 9 ku Okufuulibwa Abaana okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Abaggalatiya 4:5

eyazaalibwa omukazi ng’afugibwa amateeka, tulyoke tufuuke abaana.

02 Abaruumi 8:15

Temwaweebwa mwoyo gwa buddu ate mutye, wabula mwaweebwa Omwoyo eyabafuula abaana, era ku bw’oyo tumukoowoola nti, “ Aba, Kitaffe.”

03 Abaefeso 1:5

Olw’okwagala kwe, yatuteekateeka tubeere abaana be mu Yesu Kristo, ng’okusiima kwe bwe kuli.

04 Yokaana 1:12

Naye bonna abaamusembeza, yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda; be bo abakkiriza erinnya lye.

05 1 Yokaana 3:1

Mulabe okwagala Katonda kw’atwagala bwe kuli okunene ennyo, n’atuyita abaana be, era ddala bwe tutyo bwe tuli. Ensi kyeva eremwa okututegeera, kubanga naye yennyini teyamutegeera.

06 Abaggalatiya 3:26

Kubanga kaakano mwenna muli baana ba Katonda olw’okukkiriza Yesu Kristo,

07 Abaefeso 1:6

Katonda tumutendereze olw’ekisa kye yatuwa obuwa mu Mwana, gw’ayagala ennyo.

08 Abaruumi 8:23

Naye ate si ekyo kyokka, era naffe abalina ebibala ebibereberye eby’Omwoyo, naffe tusinda munda yaffe nga tulindirira okufuuka abaana, kwe kununulibwa kw’emibiri gyaffe.

09 2 Abakkolinso 6:18

Era “nnaabeeranga Kitammwe, nammwe ne mubeeranga batabani bange ne bawala bange,” bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna.

Emitwe egikwatagana