Ennyiriri za Bayibuli ku Tewali Kusalirwa Musango
Ennyiriri za Bayibuli 10 ku Tewali Kusalirwa Musango okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Noolwekyo abo abali mu Kristo Yesu, tebaliiko musango; abo abatagoberera kwegomba okw’omubiri wabula ne bagoberera Omwoyo.
“Ddala ddala mbagamba nti, Awulira ebigambo byange, n’akkiriza eyantuma, aba n’obulamu obutaggwaawo, era talisingibwa musango, kubanga aliba avudde mu kuzikirira ng’atuuse mu bulamu.
Ani aliroopa abalonde ba Katonda? Katonda y’awa obutuukirivu. Ani alibasalira omusango? Kristo Yesu yafa, kyokka okusinga byonna yazuukizibwa, era ali ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, ng’atwegayiririra.
Amukkiriza tasalibwa musango, naye atakkiriza gumaze okumusinga kubanga takkiririza mu linnya ly’Omwana oyo omu yekka owa Katonda.
Mukama Ayinzabyonna y’anyamba. Ani alinsalira omusango? Bonna balikaddiwa bayulike ng’ekyambalo; ennyenje ziribalya.
Kubanga Katonda teyatuma Mwana we mu nsi kugisalira musango, wabula ensi erokolebwe okuyita mu ye.
Alina omukisa oyo asonyiyiddwa ebyonoono bye ekibi ne kiggyibwawo. Alina omukisa omuntu oyo Mukama gw’atakyabalira kibi kye, ne mu mutima gwe nga temuli bukuusa.
Bwe yasazaamu era n’aggyawo ebiragiro ebyawandiikibwa mu mateeka ebyatwolekeranga, n’abikomerera ku musaalaba,
Kale nga bwe twaweebwa obutuukirivu olw’okukkiriza tulina emirembe ne Katonda, mu Mukama waffe Yesu Kristo,
Bwe twagala bannaffe nga Kristo bwe yakola ng’ali mu nsi muno, tetulibaako kye tweraliikirira ku lunaku olw’okusalirako omusango.