Ennyiriri za Bayibuli ku Okubalibwa Omutuukirivu

Ennyiriri za Bayibuli 12 ku Okubalibwa Omutuukirivu okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Abaruumi 4:5

Katonda tayinza kukusembeza olw’ebikolwa byo. Katonda asembeza aboonoonyi olw’okukkiriza kwe balina mu ye.

02 Abaruumi 4:3

Ebyawandiikibwa bitugamba bitya? Ibulayimu yakkiriza Katonda ne kimubalirwa okuba obutuukirivu.

03 Olubereberye 15:6

Ibulaamu n’akkiriza Mukama, n’akimubalira okuba obutuukirivu.

04 Abaggalatiya 3:6

Ibulayimu yakkiriza Katonda ne kimubalirwa okuba obutuukirivu.

05 Abaruumi 4:22-24

era bwe kityo ne kimubalirwa okuba obutuukirivu. Naye tekyawandiikibwa ku lulwe yekka nti, “Kyamubalirwa okuba obutuukirivu;” naye era naffe, abakkiririza mu oyo eyazuukiza Yesu Mukama waffe mu bafu.

06 Abaruumi 4:9

Kale omukisa guno, gw’abakomole bokka oba n’abatali bakomole? Ebyawandiikibwa bitugamba nti okukkiriza kwa Ibulayimu kwamubalirwa okuba obutuukirivu.

07 Abaruumi 4:6

Kabaka Dawudi naye yayogera kye kimu ku muntu ono Katonda gw’awa obutuukirivu obutavudde mu bikolwa bye ng’agamba nti:

08 Zabbuli 32:2

Alina omukisa omuntu oyo Mukama gw’atakyabalira kibi kye, ne mu mutima gwe nga temuli bukuusa.

09 Yakobo 2:23

n’ekyawandiikibwa ne kituukirizibwa ekigamba nti, “Ibulayimu yakkiriza Katonda, ne kimubalirwa okuba obutuukirivu, era n’ayitibwa mukwano gwa Katonda.”

10 Abaruumi 4:11

Akabonero ke yafuna ak’okukomolebwa, ye nvumbo ku butuukirivu olw’okukkiriza kwe, nga tannakomolebwa, alyoke abeere jjajja w’abo bonna abakkiriza nga si bakomole, nabo balyoke babalirwe obutuukirivu.

11 Abafiripi 3:9

ndabikire mu ye nga sirina butuukirivu bwange ku bwange obuva mu kukwata amateeka, wabula nga nnina obutuukirivu obuva mu kukkiriza Kristo, era obuva eri Katonda obwesigamye ku kukkiriza.

12 2 Abakkolinso 5:21

Kubanga oyo ataamanya kibi, yafuuka ekibi ku lwaffe, tulyoke tufune obutuukirivu obuva eri Katonda mu Yesu.

Emitwe egikwatagana