Ennyiriri za Bayibuli ku Abaana ba Katonda
Ennyiriri za Bayibuli 8 ku Abaana ba Katonda okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Naye bonna abaamusembeza, yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda; be bo abakkiriza erinnya lye.
Mulabe okwagala Katonda kw’atwagala bwe kuli okunene ennyo, n’atuyita abaana be, era ddala bwe tutyo bwe tuli. Ensi kyeva eremwa okututegeera, kubanga naye yennyini teyamutegeera.
Omwoyo yennyini akakasiza wamu n’omwoyo waffe nga bwe tuli abaana ba Katonda.
Kubanga kaakano mwenna muli baana ba Katonda olw’okukkiriza Yesu Kristo,
kubanga abo bonna abakulemberwa Omwoyo wa Katonda be baana ba Katonda.
Abaagalwa, kaakano tuli baana ba Katonda, naye tetumanyi bwe tuliba. Kyokka tumanyi nti bw’alirabika tulifaanana nga ye, kubanga tulimulabira ddala nga bw’ali.
mulyoke mube nga temuliiko kyakunenyezebwa nga muli balongoofu, mube abaana ba Katonda abatalina bbala, wakati mu mulembe ogwakyama era omwonoonefu, mwe mubeere ekyokulabirako eky’amaanyi mu nsi,
ate si ggwanga lyokka naye n’okukuŋŋaanya abaana ba Katonda abaasaasaana.