Ennyiriri za Bayibuli ku Ekyama ky'Enjiri

Ennyiriri za Bayibuli 7 ku Ekyama ky'Enjiri okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Abakkolosaayi 1:26

Ekyama ekyakwekebwa okuva edda n’edda lyonna, n’emirembe n’emirembe, kaakano kibikkuliddwa abantu be, be batukuvu be.

02 Abakkolosaayi 1:27

Katonda bw’atyo bwe yasiima, alyoke amanyise Abaamawanga obugagga obw’ekitiibwa ky’ekyama ekyo. Ekyama ekyo ye Kristo abeera mu mmwe, era ly’essuubi ery’ekitiibwa.

03 Abaefeso 3:6

Kino kye kyama kye njogerako: olw’enjiri ya Kristo, Abaamawanga balisikira wamu ne Isirayiri ekyo Katonda kye yasuubiza, era baliba omubiri gumu, era ne bagabanira wamu ekisuubizo ekyo mu Kristo Yesu.

04 Abaefeso 1:9

Yatubikkulira ekyama eky’okwagala kwe, ng’okusiima kwe bwe kuli kwe yateekerateekera mu Kristo.

05 1 Timoseewo 3:16

Tewali kubuusabuusa ekyama ky’okutya Katonda kikulu ddala, era kigamba nti: “Yalabisibwa mu mubiri, n’akakasibwa Omwoyo nga bw’atuukiridde, n’alabibwa bamalayika, n’alangibwa mu mawanga, n’akkirizibwa mu nsi, era n’atwalibwa n’ekitiibwa mu ggulu.”

06 Abaefeso 3:9

Katonda eyatonda ebintu byonna yayagala nnyambe buli muntu okutegeera ebyekyama ebyali bikwekeddwa mu Katonda.

07 1 Abakkolinso 2:7

Wabula twogera eby’amagezi ga Katonda, agatamanyiddwa era agakisibwa, Katonda bye yateekateeka edda n’edda olw’ekitiibwa kyaffe;

Emitwe egikwatagana