Ennyiriri za Bayibuli ku Obulokozi

Ennyiriri za Bayibuli 7 ku Obulokozi okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Abaruumi 10:9

Bw’oyatula n’akamwa ko nti, Yesu ye Mukama, n’okkiriza n’omutima gwo nga Katonda yamuzuukiza mu bafu, olokoka.

02 Ebikolwa by’Abatume 4:12

Tewali mu mulala yenna bulokozi, era tewali linnya ddala na limu mu mannya gonna agaaweebwa abantu, wansi w’eggulu, mwetugwanira okulokolebwa.”

03 Abaruumi 10:10

Kubanga omuntu akkiriza na mutima gwe n’aweebwa obutuukirivu, era ayatula na kamwa ke n’alokoka.

04 Yokaana 3:17

Kubanga Katonda teyatuma Mwana we mu nsi kugisalira musango, wabula ensi erokolebwe okuyita mu ye.

05 Tito 2:11

Kubanga ekisa kya Katonda ekireetera abantu bonna obulokozi kirabise,

06 2 Abakkolinso 6:2

Kubanga agamba nti, “Nakuwulira mu biro ebituufu, era ne nkuyamba ku lunaku olw’obulokozi.” Laba kaakano kye kiseera ekituufu, era laba kaakano lwe lunaku olw’obulokozi.

07 1 Timoseewo 2:4

ayagala abantu bonna balokolebwe, era bategeere amazima.

Emitwe egikwatagana