Ennyiriri za Bayibuli ku Okujooga
Ennyiriri za Bayibuli 13 ku Okujooga okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Muyige okukola obulungi, musalenga emisango n’amazima, mudduukirirenga abajoogebwa, musalenga omusango gw’atalina kitaawe, muwolerezenga bannamwandu.
Mukama kye kiddukiro ky’abo abanyigirizibwa; era kye kigo kyabwe mu biseera eby’akabi.
Mukama asala mu butuukirivu ne mu bwenkanya, ensonga z’abo bonna abajoogebwa.
Ate nalaba okunnyigirizibwa kwonna okukolebwa wansi w’enjuba. Ate laba, amaziga gaabo abanyigirizibwa, era nga tebalina wakugabasangulako! Ababanyigiriza baalina obuyinza, kyokka nga tewali asobola kubagambako.
Temutulugunyanga bannamwandu, n’abatalina bakitaabwe, n’abatambuze wadde abaavu, era tewateekwa kubaawo muntu n’omu ku mmwe alowooza mu mutima gwe okukola obulabe ku muganda we!’
Tonyaganga mwavu, kubanga mwavu, oba okutulugunyanga aleeteddwa mu mbuga. Kubanga Mukama alibawolereza, n’abo ababanyaga alibanyaga.
Mukama ayogera nti, “Olw’okujoogebwa kw’abanafu, n’olw’okusinda kw’abali mu bwetaavu, nnaasituka kaakano ne nnwanirira abo abalumbibwa.”
Anaalwaniriranga abaavu, n’atereeza abaana b’abo abeetaaga, n’omujoozi n’amusaanyaawo.
Nga zibasanze abo abateeka amateeka agatali ga bwenkanya, n’abo abawa ebiragiro ebinyigiriza, okulemesa abaavu ne batafuna nsala ebagwanidde; era n’okunyaga ku bantu bange abaavu ebyabwe, ne bafuula bannamwandu omunyago gwabwe, n’abatalina ba kitaabwe omuyiggo gwabwe!
Omuntu atulugunya abaavu anyooma oyo eyabatonda, naye buli abakwatirwa ekisa, agulumiza Katonda.
Atereeza ensonga z’abajoogebwa mu bwenkanya, n’abalumwa enjala abawa ebyokulya. Mukama asumulula abasibe.
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Musale emisango egy’ensonga, mukole ebituufu. Anyagiddwako ebibye mumuggye mu mukono gw’oyo amujooga. Temukola kibi oba eby’obukambwe eri omugwira, newaakubadde atalina kitaawe, newaakubadde nnamwandu so temuyiwa musaayi gw’abantu abataliiko musango mu kifo kino.
Olinnyirira omwavu, n’omuwaliriza okukuwa emmere ey’empeke. Newaakubadde nga mwezimbidde amayumba ag’amayinja, temuligabeeramu; era newaakubadde nga mwesimbidde ennimiro z’emizabbibu ennungi, temulinywa ku wayini waamu.