Ennyiriri za Bayibuli ku Obwenkanya
Ennyiriri za Bayibuli 11 ku Obwenkanya okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Mukama akulaze, ggwe omuntu, ekirungi ky’oteekwa okukola. Kaakano, Mukama kiki ky’akwetaaza, okuggyako okukola eby’ensonga, okuba n’ekisa era n’okutambulira mu buwombeefu ne Katonda wo.
Muyige okukola obulungi, musalenga emisango n’amazima, mudduukirirenga abajoogebwa, musalenga omusango gw’atalina kitaawe, muwolerezenga bannamwandu.
Kye njagala okulaba ge mazima n’obwenkanya nga bikulukuta ng’amazzi, n’obutuukirivu nga bukulukuta ng’omugga ogw’amaanyi.
Okukola ebituufu n’eby’amazima kisanyusa Mukama okusinga ssaddaaka.
Ogobereranga bwenkanya bwokka olyoke olye ensi Mukama Katonda wo gy’akuwa.
“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Musalenga emisango egy’ensonga, mukwatirweganenga ekisa n’okusaasiragananga buli muntu eri muganda we.
Mukama ayagala obutuukirivu n’obwenkanya. Ensi ejjudde okwagala kwa Mukama okutaggwaawo.
Songa Mukama ayagala nnyo okuba ow’ekisa gy’oli; era agolokoka okukulaga okusaasira. Kubanga Mukama Katonda wa bwenkanya, balina omukisa bonna abamulindirira.
Yogera olamulenga n’obwenkanya, olwanirirenga abaavu n’abali mu bwetaavu.
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Musale emisango egy’ensonga, mukole ebituufu. Anyagiddwako ebibye mumuggye mu mukono gw’oyo amujooga. Temukola kibi oba eby’obukambwe eri omugwira, newaakubadde atalina kitaawe, newaakubadde nnamwandu so temuyiwa musaayi gw’abantu abataliiko musango mu kifo kino.
Balina omukisa abalina obwenkanya, era abakola ebituufu bulijjo.