Ennyiriri za Bayibuli ku Abaavu

Ennyiriri za Bayibuli 14 ku Abaavu okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Engero 19:17

Oyo akwatirwa omwavu ekisa awola Mukama, era Mukama alimusasula olw’ekikolwa kye ekyo.

02 Engero 14:31

Omuntu atulugunya abaavu anyooma oyo eyabatonda, naye buli abakwatirwa ekisa, agulumiza Katonda.

03 Zabbuli 41:1

Alina omukisa asaasira omunaku; Mukama amulokola ku lunaku olw’akabi.

04 Abaggalatiya 2:10

Kye baatusaba kyokka tujjukirenga abaavu, ate ng’ekyo kye nnali nesunga okukola.

05 Engero 28:27

Agabira abaavu talibaako ne kye yeetaaga, naye abakodowalira anaabanga n’ebikolimo bingi.

06 Zabbuli 140:12

Mmanyi nga Mukama ayamba abo ababonaabona, y’ayamba abanaku okuyisibwa mu bwenkanya.

07 Lukka 14:13

Naye bw’ofumbanga ekijjulo, oyitanga abaavu, n’abagongobavu, n’abalema ne bamuzibe.

08 Engero 22:9

Omuntu omugabi anaabanga n’omukisa, kubanga emmere ye agirya n’abaavu.

09 Engero 29:7

Omutuukirivu afaayo ku nsonga z’abaavu, naye abakozi b’ebibi tebakola bwe batyo.

10 Ekyamateeka Olwokubiri 15:7-8

Bw’onoobanga oli mu bibuga by’omu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, mu mmwe bwe munaabangamu munno omwavu ali mu kwetaaga tokakanyazanga mutima gwo wadde okukodowaliranga muganda wo oyo omwavu. Omwanjululizanga engalo zo, n’omuwolanga n’okwagala kyonna ky’anaabanga yeetaaga okumuwewulako obuzibu bwe.

11 Zabbuli 113:7

Abaavu abayimusa n’abaggya mu nfuufu; n’abali mu kwetaaga n’abasitula ng’abaggya mu vvu,

12 Lukka 4:18

“Omwoyo wa Mukama ali ku nze. Anfuseeko amafuta okubuulira abaavu Enjiri. Antumye okubuulira abasibe okuteebwa, n’abazibe b’amaaso okuzibulwa amaaso balabe, n’abanyigirizibwa okufuna eddembe,

13 Yakobo 2:5

Mumpulirize, abooluganda abaagalwa, Katonda teyalonda abo ensi b’eyita abaavu, okuba abagagga mu kukkiriza, era okuba abasika ab’obwakabaka obw’omu ggulu, Katonda bwe yasuubiza abo abamwagala?

14 Engero 31:9

Yogera olamulenga n’obwenkanya, olwanirirenga abaavu n’abali mu bwetaavu.

Emitwe egikwatagana