Ennyiriri za Bayibuli ku Okulabirira Abeetaaga
Ennyiriri za Bayibuli 5 ku Okulabirira Abeetaaga okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
01 Engero 14:31
Omuntu atulugunya abaavu anyooma oyo eyabatonda, naye buli abakwatirwa ekisa, agulumiza Katonda.
Olwokubanga mu nsi temuubulengamu baavu abali mu kwetaaga, kyenva nkulagira nti muganda wo omwavu era ali mu kwetaaga omwanjululizanga engalo zo bulijjo mu nsi yo.
Buli alina ebintu eby’omu nsi n’alaba muganda we nga yeetaaga, naye n’abulwako ky’amuwa, okwagala kwa Katonda, kuyinza kutya okuba mu ye?
04 Isaaya 58:10
bw’olyewaayo okuyamba abayala n’odduukirira abali mu buzibu, olwo omusana gwo gulyaka n’ova mu kizikiza, ekibadde ekiro kifuuke ettuntu.
05 Engero 19:17
Oyo akwatirwa omwavu ekisa awola Mukama, era Mukama alimusasula olw’ekikolwa kye ekyo.