Ennyiriri za Bayibuli ku Okulwanirira Abanafu
Ennyiriri za Bayibuli 10 ku Okulwanirira Abanafu okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Abanafu n’abatalina bakitaabwe mubalamulenga mu bwenkanya; abaavu n’abanyigirizibwa mubayambenga mu bwenkanya.
Yogereranga abo abatasobola kweyogerera, otunulenga mu nsonga z’abo bonna abaasigala ettayo. Yogera olamulenga n’obwenkanya, olwanirirenga abaavu n’abali mu bwetaavu.
Muyige okukola obulungi, musalenga emisango n’amazima, mudduukirirenga abajoogebwa, musalenga omusango gw’atalina kitaawe, muwolerezenga bannamwandu.
Anaalwaniriranga abaavu, n’atereeza abaana b’abo abeetaaga, n’omujoozi n’amusaanyaawo.
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Musale emisango egy’ensonga, mukole ebituufu. Anyagiddwako ebibye mumuggye mu mukono gw’oyo amujooga. Temukola kibi oba eby’obukambwe eri omugwira, newaakubadde atalina kitaawe, newaakubadde nnamwandu so temuyiwa musaayi gw’abantu abataliiko musango mu kifo kino.
Mulwanirire abatalina maanyi n’abali mu kwetaaga, mubawonye; mubanunule nga mubaggya mu mikono gy’ababi.
Odduukiriranga n’owonya abo abatwalibwa okuttibwa, n’abo abali ku njegoyego z’okuttibwa, obawonye okuttirwa obwemage. Bw’ogambanga nti, “Laba kino twali tetukimanyi,” oyo akebera emitima aba talaba? Oyo akuuma obulamu bwo takimanyi? Talisasula buli muntu ng’omulimu gwe bwe guli?
Abafuzi bo bajeemu, mikwano gya babbi, bonna bawoomerwa enguzi, era banoonya kuweebwa birabo; tebayamba batalina ba kitaabwe, so n’ensonga za bannamwandu tebazifaako.
“Akolimirwe omuntu yenna atalaga bwenkanya eri bannamawanga, oba bamulekwa oba bannamwandu.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”
Alina omukisa asaasira omunaku; Mukama amulokola ku lunaku olw’akabi.