Ennyiriri za Bayibuli ku Omugwira
Ennyiriri za Bayibuli 8 ku Omugwira okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Omugwira atuula mu mmwe mumuyisenga ng’omuzaaliranwa ow’omu nsi yammwe. Mumwagalenga nga bwe mweyagala, kubanga nammwe mwali bagwira mu nsi y’e Misiri. Nze Mukama Katonda wammwe.
“Temuwalagganyanga munnaggwanga, kubanga mmwe bennyini mumanyi nga bwe kiri okuba bannaggwanga, kubanga mwali bannaggwanga mu nsi y’e Misiri.
Kale nno, mwagalenga bannamawanga kubanga nammwe mwaliko bannamawanga mu nsi ey’e Misiri.
Temwerabiranga kusembeza bagenyi, kubanga waliwo abaasembeza bamalayika nga tebagenderedde.
Kubanga nnali muyala ne mundiisa, nnali muyonta ne mumpa ekyokunywa, nnali mugenyi ne munnyaniriza,
“Omugwira bw’abeeranga omutuuze mu nsi yammwe, temumuyisanga bubi.
Ekibiina kyammwe kyonna kinaabeeranga n’amateeka geegamu, mmwe ge munaakwatanga era n’abagwira abali mu mmwe ge banaakwatanga; eryo linaabanga etteeka ery’enkalakkalira mu mirembe gyammwe gyonna egirijja. Mmwe nga bwe muli n’omugwira bw’atyo bw’anaabanga mu maaso ga Mukama Katonda. Amateeka n’ebiragiro bye munaakwatanga n’omugwira anaabeeranga mu mmwe by’anaakwatanga.”
Toyiikirizanga mwavu n’omupakasi ali mu kwetaaga, n’olwawo okumusasula empeera ye; ne bw’anaabanga Omuyisirayiri munno oba ow’okubannamawanga abanaabeeranga mu nsi yo nga basula mu kimu ku bibuga byo.