Ennyiriri za Bayibuli ku Entebe ya Katonda ey'Obwakabaka

Ennyiriri za Bayibuli 12 ku Entebe ya Katonda ey'Obwakabaka okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Isaaya 6:1

Awo mu mwaka kabaka Uzziya mwe yafiira, nalaba Mukama ng’atudde ku ntebe empanvu ng’agulumizibbwa, n’ekirenge ky’ekyambalo kye nga kijjula yeekaalu.

02 Zabbuli 47:8

Katonda afuga amawanga gonna; afuga amawanga ng’atudde ku ntebe ye entukuvu.

03 Okubikkulirwa 4:2

Amangwago, nga ndi mu mwoyo, laba, ne ndaba entebe ey’obwakabaka ng’etegekeddwa mu ggulu, ne ku ntebe eyo nga kuliko atuddeko.

04 Zabbuli 103:19

Mukama anywezezza entebe ye ey’obwakabaka mu ggulu, n’obwakabaka bwe bufuga ensi yonna.

05 Abaebbulaniya 4:16

Kale tusembererenga entebe ya Katonda ey’obwakabaka ey’ekisa n’obuvumu, tufune okusaasirwa n’ekisa tubeerwe mu kwetaaga kwaffe.

06 Okubikkulirwa 4:3

Eyali agituddeko yali ayakaayakana ng’amayinja ag’omuwendo omungi aga yasepi ne sadio; era ng’entebe eyo yeetooloddwa musoke ng’ayakaayakana nga zumaliidi.

07 Zabbuli 45:6

Entebe yo ey’obwakabaka, Ayi Katonda, ya lubeerera; n’omuggo ogw’obwenkanya gwe guliba ogw’obwakabaka bwo.

08 Danyeri 7:9

“Era nga nkyali awo ne ndaba, “entebe ez’obwakabaka nga ziteekeddwawo, n’Owedda n’Edda n’atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka. Ebyambalo bye byali byeru ng’omuzira, n’enviiri ez’oku mutwe gwe nga njeru ng’ebyoya by’endiga. Entebe ye ey’obwakabaka yali eyakaayakana ng’ennimi z’omuliro, ne namuziga zaayo nga zaaka omuliro.

09 Ezeekyeri 1:26

Waggulu w’ekifo ekigazi waggulu w’emitwe gyabyo waaliwo ekyafaanananga entebe ey’obwakabaka, eya safiro, ate waggulu w’ekifaananyi eky’entebe ey’obwakabaka nga watuddeyo eyafaanana ng’omuntu.

10 Okubikkulirwa 7:9-10

Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba, era laba, ekibiina ky’abantu ekinene ennyo nga tebasoboka na kubalika, nga bava mu buli nsi na buli kika, na buli ggwanga na buli lulimi, nga bayimiridde mu maaso g’entebe ey’obwakabaka ne mu maaso g’Omwana gw’Endiga nga bambadde ebyambalo ebyeru nga balina n’enkindu mu ngalo zaabwe. Ne boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nga bagamba nti, “Obulokozi bwa Katonda waffe atudde ku ntebe ey’obwakabaka era bwa Mwana gw’Endiga.”

11 Zabbuli 11:4

Mukama ali mu Yeekaalu ye entukuvu; Mukama atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka eri mu ggulu. Amaaso ge gatunuulira era geetegereza abaana b’abantu.

12 Yeremiya 17:12

Ekifo kyaffe ekitukuvu, ntebe ey’ekitiibwa eyagulumizibwa okuva ku lubereberye.

Emitwe egikwatagana