Ennyiriri za Bayibuli ku Okutya Mukama
Ennyiriri za Bayibuli 6 ku Okutya Mukama okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
01 Engero 9:10
“Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera, era n’okumanya oyo Omutukuvu Katonda, kwe kutegeera.
02 Engero 1:7
Kale mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera, naye abasirusiru banyooma amagezi n’okulagirirwa.
Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera era abo abagondera ebigambo ebyo bajjudde obutegeevu. Mukama atenderezebwenga emirembe gyonna.
04 Engero 14:27
Okutya Mukama ye nsulo y’obulamu, kuleetera omuntu okwewala emitego gy’okufa.
Kale byonna biwuliddwa; eno y’enkomerero yaabyo: Tyanga Katonda okwatenga amateeka ge, kubanga ekyo omuntu ky’agwanira okukola.
06 Engero 19:23
Okutya Mukama kutuusa mu bulamu; olwo omuntu n’awummula nga mumativu nga tatuukiddwako kabi.