Ennyiriri za Bayibuli ku Obulungi bwa Katonda obw'Ekitiibwa
Ennyiriri za Bayibuli 11 ku Obulungi bwa Katonda obw'Ekitiibwa okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Obukulu, n’amaanyi, n’ekitiibwa, n’obuwanguzi, n’okugulumizibwa bibyo, Ayi Mukama Katonda, kubanga byonna ebiri mu ggulu ne mu nsi bibyo. Obwakabaka bubwo, Ayi Mukama Katonda, era ogulumizibwa okuba omukulu wa byonna.
Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange. Ayi Mukama Katonda wange, oli mukulu nnyo; ojjudde obukulu n’ekitiibwa.
Ekitiibwa n’obukulu bimwetooloola; amaanyi n’obulungi biri mu nnyumba ye entukuvu.
Nnaatendanga obukulu n’obulungi bw’ekitiibwa kyo, era nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo ebyewuunyisa.
Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga ddungi era kkulu nnyo mu nsi yonna! Ekitiibwa kyo kitenderezebwa okutuuka waggulu mu ggulu.
Obuwanguzi bwe wamuwa bumuleetedde ekitiibwa kinene. Omuwadde ekitiibwa n’oyatiikirira.
Mu bukiikakkono evaayo zaabu; Katonda ajja mu kitiibwa eky’amaanyi.
Emirimu gye mikulu nnyo era gya kitiibwa, n’obutuukirivu bwe tebuggwaawo emirembe gyonna.
Katonda yajja ng’ava e Temani, Omutukuvu oyo ng’ava ku lusozi Palani. Ekitiibwa kye kyatimbibwa ku ggulu, ensi n’eryoka ejjula ettendo lye. Okumasamasa kwe ne kulyoka kubeera ng’enjuba evaayo. Ebimyanso byayakanga okuva mu mukono gwe, era omwo mwe mwasinziiranga amaanyi ge ag’ekitalo.
Ebikolwa byo biragibwe abaweereza bo, n’abaana baabwe balabe ekitiibwa kyo.
“Yimuka, oyake, kubanga ekitangaala kyo kizze kyase era ekitiibwa kya Mukama kikwakirako.