Ennyiriri za Bayibuli ku Ekitiibwa kye

Ennyiriri za Bayibuli 12 ku Ekitiibwa kye okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

Yongerako ennyiriri zonna 12 Tondawo akawunti ey’obwereere okuzikwata ku mutwe.
01 Zabbuli 19:1 Olunyiriri olukulu

Eggulu litegeeza ekitiibwa kya Katonda, ebbanga ne litegeeza emirimu gy’emikono gye.

02 Isaaya 6:3

Buli omu yali ng’ayogera ne munne n’eddoboozi ery’omwanguka nti, “Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Mukama Katonda Ayinzabyonna: ensi yonna ejjudde ekitiibwa kye.”

03 Kaabakuuku 2:14

Kubanga ensi erijjula okumanya ekitiibwa kya Mukama, ng’amazzi bwe ganjaala ku nnyanja.

04 Zabbuli 96:3

Mutende ekitiibwa kye mu mawanga gonna, eby’amagero bye mubimanyise abantu bonna.

05 Okubala 14:21

Naye nno mu mazima ddala nga bwe ndi omulamu, era ng’ekitiibwa kya Mukama Katonda bwe kijjuza ensi yonna,

06 Isaaya 42:8

“Nze Mukama, eryo lye linnya lyange, n’ekitiibwa kyange sirikiwa mulala, newaakubadde ettendo lyange okukiwa bakatonda abalala.

07 Abaruumi 11:36

Kubanga byonna biva gy’ali, era biyita mu ye era bidda gy’ali. Ekitiibwa kibe gy’ali emirembe gyonna. Amiina.

08 Zabbuli 72:19

Erinnya lye ekkulu ligulumizibwenga emirembe n’emirembe! Ensi yonna ejjule ekitiibwa kye. Amiina era Amiina!

09 Okuva 33:18

Musa n’agamba nti, “Nkwegayiridde, ndaga ekitiibwa kyo.”

10 Isaaya 40:5

Ekitiibwa kya Mukama kiribikkulwa, ne bonna abalina omubiri balikirabira wamu, kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.”

11 1 Ebyomumirembe 16:24

Mubuulire ekitiibwa kye mu mawanga, n’ebikolwa bye ebyamagero mu bantu bonna.

12 Zabbuli 57:5

Ayi Katonda, ogulumizibwenga okusinga eggulu; n’ekitiibwa kyo kibune ensi yonna.

Emitwe egikwatagana