Ennyiriri za Bayibuli ku Mukama Asaanira

Ennyiriri za Bayibuli 9 ku Mukama Asaanira okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Okubikkulirwa 4:11

“Mukama waffe era Katonda waffe, osaanidde okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo n’obuyinza, kubanga gwe watonda ebintu byonna era byonna byatondebwa ku lulwo era gwe wasiima okubiteekawo.”

02 Okubikkulirwa 5:12

Ne boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Omwana gw’Endiga eyattibwa, asaanidde okuweebwa obuyinza, n’obugagga, n’amagezi n’amaanyi, n’ekitiibwa, n’ettendo n’okwebazibwa!”

03 Zabbuli 145:3

Mukama mukulu, wa kitiibwa, era asaanira okutenderezebwanga ennyo, n’obukulu bwe tebwogerekeka.

04 2 Samwiri 22:4

Nkaabira Mukama asaanidde okutenderezebwa, n’andokola eri abalabe bange.

05 Okubikkulirwa 5:9

Baali bamuyimbira oluyimba oluggya nti, “Ggw’osaanidde okutoola omuzingo gw’ekitabo, n’okusumulula ebigusibye n’okuguzingulula, kubanga wattibwa, omusaayi gwo ne gununula abantu ba Katonda okubaggya mu buli kika, na buli lulimi, na buli ggwanga, na buli nsi.

06 Okubikkulirwa 5:13

Ne ndyoka mpulira buli kitonde kyonna mu ggulu ne ku nsi ne wansi w’ensi ne mu nnyanja ne byonna ebigirimu nga bitendereza nti, “Okutenderezebwa, n’ettendo, n’ekitiibwa, n’amaanyi by’Oyo atudde ku ntebe y’obwakabaka awamu n’Omwana gw’Endiga, Emirembe n’emirembe.”

07 Zabbuli 18:3

Nkoowoola Mukama asaana okutenderezebwa, era amponya eri abalabe bange.

08 Zabbuli 96:4

Kubanga Mukama mukulu era asaanira nnyo okutenderezebwa; asaana okutiibwa okusinga bakatonda bonna.

09 1 Ebyomumirembe 16:25

Mukama mukulu era asaanira okutenderezebwa; era atiibwenga okusinga bakatonda abalala bonna.

Emitwe egikwatagana