Ennyiriri za Bayibuli ku Obutukuvu bwa Katonda
Ennyiriri za Bayibuli 9 ku Obutukuvu bwa Katonda okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Buli omu yali ng’ayogera ne munne n’eddoboozi ery’omwanguka nti, “Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Mukama Katonda Ayinzabyonna: ensi yonna ejjudde ekitiibwa kye.”
Kale, nga Katonda eyabayita bw’ali omutukuvu, nammwe mubeerenga batukuvu mu byonna bye mukola. Nga bwe kyawandiikibwa nti, “Mubenga batukuvu, kubanga nze ndi mutukuvu.”
ategeeze ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri abagambe nti, “Mubeerenga batukuvu, kubanga nze Mukama Katonda wammwe ndi mutukuvu.
Ani ataakutye Ayi Mukama, n’atagulumiza linnya lyo? Ggwe wekka gwe Mutukuvu, amawanga gonna galijja ne gasinziza mu maaso go, Kubanga ebikolwa byo eby’obutuukirivu birabise.”
Tewali mutukuvu nga Mukama Katonda tewali mulala wabula ggwe; tewali Lwazi oluli nga Katonda waffe.
Amaaso go gajjudde obulongoofu tegatunula ku kibi, so toyinza kugumiikiriza bukyamu. Kale lwaki ggwe ogumiikiriza ab’enkwe, n’osirika ng’omubi amalirawo ddala omuntu amusinga obutuukirivu?
Mumugulumize Mukama Katonda waffe; mumusinzize wansi w’entebe y’ebigere bye. Mukama mutukuvu.
Ani akufaanana, Ayi Mukama, mu bakatonda bonna? Ani akufaanana, ggwe, Omutukuvu Oweekitiibwa, atiibwa era atenderezebwa, akola ebyamagero?
Kubanga bw’atyo bw’ayogera oyo ali waggulu omugulumivu omulamu emirembe n’emirembe, ow’erinnya ettukuvu nti, “Ntuula mu kifo ekigulumivu ekitukuvu awamu n’oyo alina omwoyo oguboneredde ogwetoowaza, okuzzaamu amaanyi omwoyo gw’abakkakkamu, era n’ogw’abo ababoneredde.