Ennyiriri za Bayibuli ku Omwoyo Omutukuvu
Omwoyo ye Katonda yennyini abeera n'abantu be era abeera munda yaabwe — Omubeezi waffe, Omuwabuzi waffe, akabonero ak'okununulibwa kwaffe. Afuka okwagala kwa Katonda mu mitima gyaffe, akuza ebibala bye mu bulamu bwaffe, era awa ebirabo olw'okugasa Ekkanisa. Ennyiriri zino zikuyamba okwaniriza Omwoyo n'okutambula naye nga otuula obumu.
Omwoyo Omutukuvu
Naye Omubeezi, Mwoyo Mutukuvu, Kitange gw’alituma mu linnya lyange, bw’alijja alibayigiriza ebintu byonna era alibajjukiza byonna bye nabagamba.
Ate temutamiiranga, kubanga mujja kweyonoona, wabula Omwoyo ajjulenga mu bulamu bwammwe.
Kale bwe tuba abalamu ku bw’Omwoyo, tugobererenga okuluŋŋamizibwa kw’Omwoyo.
nange ndisaba Kitange n’abawa Omubeezi omulala anaabeeranga nammwe emirembe n’emirembe,
Ye bw’alijja, alirumiriza ensi olw’ekibi, n’olw’obutuukirivu n’olw’omusango,
kubanga abo bonna abakulemberwa Omwoyo wa Katonda be baana ba Katonda.
Naye Omwoyo ow’amazima, bw’alijja alibaluŋŋamya mu mazima gonna, kubanga, taliyogera ku bubwe, wabula anaabategeezanga ebyo by’awulira. Anaababuuliranga ebigenda okubaawo.
Temumanyi nti mmwe muli yeekaalu ya Katonda era nga Omwoyo wa Katonda abeera mu mmwe?
N’Omwoyo bw’atyo atubeera mu bunafu bwaffe. Tetumanyi kusaba nga bwe kitugwanira, naye Omwoyo yennyini atwegayiririra n’okusinda okutayogerekeka.
Ng’Ekyawandiikibwa bwe kigamba nti buli akkiriza Nze emigga egy’amazzi amalamu girikulukuta nga gifuluma mu mutima gwe!”
Nammwe, Kristo yabaleeta eri amazima, kye kigambo eky’Enjiri ey’okulokolebwa kwammwe. Bwe mwamukkiriza, ne muteekebwako envumbo eya Mwoyo Mutukuvu eyasuubizibwa,
Naye muliweebwa amaanyi, Mwoyo Mutukuvu bw’alimala okubakkako, era munaabanga bajulirwa bange mu Yerusaalemi, ne mu Buyudaaya yonna, ne mu Samaliya okutuukira ddala ku nkomerero z’ensi.”
Ekibala n'Ebirabo by'Omwoyo
Naye ebibala eby’Omwoyo bye bino: okwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, obwesigwa, obuwombeefu, okwefuga; awali ebyo tewali tteeka libiwakanya.
Kubanga Mwoyo wa Katonda, gwe yatuwa tatufuula bati, wabula atuwa amaanyi, n’okwagala era n’okwegendereza.
Buli omu asaanidde okukozesa n’obwesigwa buli kirabo Katonda kye yamuwa olw’okugasa banne nabo balyoke bafune emikisa gya Katonda emingi gy’agaba.
Kyokka okufukibwako amafuta kwe mwafuna okuva gy’ali kwali mu mmwe, noolwekyo temwetaaga muntu kubayigiriza. Wabula Mwoyo Mutukuvu y’abayigiriza buli kimu, era w’amazima si wa bulimba, kale mubeerenga mu ye nga bwe yabayigiriza.
Waliwo ebirabo bya ngeri nnyingi, naye Mwoyo abigaba y’omu.
Kaakano waliwo ebintu bisatu eby’olubeerera: okukkiriza, n’okusuubira, era n’okwagala. Naye ekisingako ku ebyo obukulu kwe kwagala.
Mugobererenga okwagala era muluubirirenga ebirabo eby’Omwoyo, na ddala ekirabo eky’okwogera eby’obunnabbi.
Kyenva nkujjukiza okuseesanga ekirabo kya Katonda ekiri mu ggwe kye yakuwa, bwe nakussaako emikono gyange.
Kuba omubiri nga bwe guli ogumu, ne guba n’ebitundu bingi, ate ebitundu byonna ne byegatta ne biba omubiri gumu, kale, ne Kristo bw’ali bw’atyo.